1 Kale ndiyimirira mu kifo kyange we ntera okubeera ntunule nga ndi waggulu eyo ku ggulumu nnindirire kyʼaliŋŋamba, era ne kye ndimuddamu ekikwata ku kwemulugunya kwʼabantu.
2 Awo Mukama nʼanziramu nʼayogera nti, “Wandiika okwolesebwa okwo. Kuwandiike bulungi ate omubaka gwe banaatuma, akutwale bunnambiro.
3 ⓑ Kubanga okwolesebwa okwo kujja mu kiseera kyakwo ekigere. Kwogera ku byʼenkomerero ate si kwa bulimba. Bwe kunaaba ngʼokuluddewo, mukulindirire, kujja kutuukirira, tekugya kulwa.
4 ⓒ Laba oyo owʼemmeeme eteri nnongoofu wa kugwa, naye omutuukirivu aliba mulamu olwʼokukkiriza kwe.”
5 Weewaawo, omwenge mulimba guleetera omuntu amalala, ate taguwummulako. Ate olwokubanga gwa mululu ngʼemagombe, mu butakkuta gufaanana okufa. Era okufaanana ngʼolumbe, tegukkuta, amawanga gonna gugeekuŋŋanyizaako ne gugafuula abasibe.
6 “Bano bonna si be balimugererako engero bamusekerere nga bagamba nti, ‘Zimusanze oyo eyeyongeza ebitali bibye! Oyo eyeetuumako obugagga obuva mu nguzi!’
7 Abakubanja tebalikuyimukirako nga tomanyiridde, era tebalizuukuka ne bakweraliikiriza? Oliba togudde mu mikono gyabwe?
8 Kubanga onyaze amawanga mangi, abantu abasigaddewo balikunyaga; Oyiye omusaayi gwʼabantu, nʼoyonoona ensi nʼebibuga nʼabantu bonna ababibeeramu.”
8
9 Zimusanze oyo azimbira amaka ge ku bikolwa ebibi, azimba ekisu kye waggulu, okwekuuma obutatuukwako kabi!
10 Wategeka okuzikirira kwʼabantu bangi, nʼoswaza ennyumba yo ne weefiiriza obulamu bwo.
11 Amayinja gʼoku bbugwe galikaaba, nʼemikiikiro gyʼebibajje girikyasanguza.
11
12 Zimusanze oyo azimba ekibuga nʼomusaayi, atandika ekibuga nʼobutali butuukirivu.
13 Tekyategekebwa Mukama owʼEggye nti okutegana kwʼabantu nku buku za muliro, nʼamawanga geemalamu ensa olwʼebintu ebitaliimu?
14 ⓓ Kubanga ensi erijjula okumanya ekitiibwa kya Mukama, ngʼamazzi bwe ganjaala ku nnyanja.
14
15 Zimusanze oyo awa baliraanwa be ekitamiiza nʼakibafukira okuva mu kita nʼabawa banywe okutuusa lwe batamiira asobole okutunuulira ensonyi zaabwe!
16 Olijjuzibwa ensonyi mu kifo kyʼekitiibwa. Naawe olinywa nʼoswala. Ekikompe ekyʼomu mukono gwa Mukama ogwa ddyo kirikyusibwa kidde gyʼoli, nʼensonyi ezʼobuwemu zisaanikire ekitiibwa kyo.
17 Ebikolwa ebyʼobukambwe bye watuusa ku Lebanooni, nʼokutta ensolo, birikutiisa. Osse abantu nʼozikkiriza ensi nʼebibuga nʼabantu ababibeeramu.
17
18 “Ekifaananyi ekyole kigasa ki? Anti kibajje bubazzi. Oba ekifaananyi ekyʼekyuma, ekisomesa obulimba? Kubanga omuweesi yeesiga mirimu gya mikono gye nga akola ebifaananyi ebitayogera!
19 Zimusanze oyo agamba omuti nti, ‘Lamuka;’ agamba ejjinja nti, ‘Golokoka!’ Kino kisobola okuluŋŋamya? Kibikiddwa zaabu ne ffeeza, so tekiriimu bulamu nʼakatono.
20 Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu: ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”
© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.