Kaabakuuku 3:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okwʼEkisigiyonosi.

2Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo; mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya. Bizze buggya mu nnaku zaffe, bimanyise mu biro bino, era mu busungu jjukira okusaasira.

2

3Katonda yajja ngʼava e Temani, Omutukuvu oyo ngʼava ku lusozi Palani. Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu, ensi nʼeryoka ejjula ettendo lye.

4Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ngʼenjuba evaayo. Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe, era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge agʼekitalo.

5Kawumpuli ye yakulembera, Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.

6Yayimirira nʼanyeenyanyeenya ensi; Yatunula nʼakankanya amawanga. Ensozi ezʼedda za merenguka, obusozi obwʼedda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.

7Nalaba eweema zʼe Kusani nga ziri mu nnaku: nʼentimbe ezʼensi ya Midiyaani nga zijugumira.

7

8Ayi Mukama, wanyiigira emigga? Obusungu bwo bwali ku bugga obutono? Wanyiigira ennyanja bwe weebagala embalaasi zo, nʼolinnya ku magaali go agʼobuwanguzi?

9Wasowolayo akasaale ko, wategeka okulasa obusaale; ensi nʼogyawulayawulamu nʼemigga.

10Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola; Amataba ne gayitawo mbiro, obuziba bwʼennyanja ne buwuluguma, ne busitula amayengo gaayo waggulu.

10

11Enjuba nʼomwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo, olwʼokumyansa kwʼobusaale bwo nga buwenyuka, nʼolwʼokumyansa kwʼeffumu lyo eritemagana.

12Watambula okuyita mu nsi ngʼojjudde ekiruyi, wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.

13Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi, olokole gwe wafukako amafuta; Wabetenta omukulembeze wʼensi ekola ebibi, ngʼomwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.

14Wafumita omutwe gwe nʼeffumu lye ye, abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba, nga bali ngʼabanaatumalawo, ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.

15Walinnyirira ennyanja nʼembalaasi zo, nʼotabangula amazzi amangi.

16Nawulira, nʼomutima gwange ne gukankana nʼemimwa gyange gijugumira olwʼeddoboozi eryo; Obuvundu ne buyingira mu magumba gange, amagulu gange ne gakankana. Naye nnaalindirira nʼobugumiikiriza olunaku olwʼokulabiramu ennaku bwe lulijjira eggwanga eritulumba.

17Wadde omutiini tegutojjera, so nʼemizabbibu nga tegiriiko bibala, amakungula gʼemizeeyituuni ne gabula, ennimiro ne zitabala mmere nʼakamu, endiga nga ziweddemu mu kisibo, nga nʼente tezikyalimu mu biraalo,

18kyokka ndijaguliza Mukama, ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

18

19 Mukama Katonda, ge maanyi gange; afuula ebigere byange okuba ngʼebyʼempeewo, era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.

19Ya Mukulu wʼAbayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
div>