1
2Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼeggye nti, “Abantu bano boogera nti, ‘Ekiseera tekinnatuuka okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.’ ”
3Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nga kyogera nti;
4“Kino kye kiseera mmwe okubeera mu nnyumba zammwe enkole obulungi, naye ennyumba eyo nʼerekebwa nga kifulukwa?”
5Kale nno bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
6Musimbye bingi naye ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye ennyonta tebaggwaako; mwambala naye temubuguma; mukolera empeera naye ze mukoze muziteeka mu nsawo ejjudde ebituli.”
7Bwʼati bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, “Mweddeko ku neeyisa yammwe.
8Mwambuke mu nsozi muleeteyo embaawo muzimbe ennyumba ngisanyukire, ngulumizibwe,” bwʼayogera Mukama.
9“Mwasuubira bingi, naye mulaba bwe muvuddemu ebitono. Bye mwaleeta eka, nabifuumuula. Mumanyi ensonga? bwʼayogera Mukama owʼEggye. Kubanga buli muntu afa ku nnyumba ye naye ennyumba yange mugigayaaliridde.
10Eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, nʼettaka nʼokuleeta ne litaleeta bibala byalyo.
11Nasindika ekyeya ku nnimiro ne ku nsozi, ku mmere eyʼempeke ne ku wayini omuggya, ku mafuta ne ku buli bibala ebyʼettaka, ku bantu ne ku nsolo, ne ku mirimu gyonna egyʼengalo.”
12Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, ye yali kabona asinga obukulu, nʼabantu bonna abaasigalawo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe, nʼobubaka bwa nnabbi Kaggayi, kubanga Mukama Katonda waabwe ye yamutuma. Abantu ne batya Mukama.
13Awo Kaggayi omubaka wa Mukama nʼategeeza abantu obubaka obwava eri Mukama nti, “Ndi wamu nammwe,” bwʼayogera Mukama.
14Awo Mukama nʼakubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, owʼessaza lya Yuda, nʼomutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, nʼemitima egyʼabantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama owʼEggye, Katonda waabwe,
15ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya mu mwezi ogwʼomukaaga mu mwaka ogwokubiri ogwʼokufuga kwa kabaka Daliyo.