Kaggayi 2:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1Awo ku lunaku olwʼamakumi abiri mu olumu mu mwezi ogwʼomusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,

2“Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, owʼessaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, nʼabantu abaasigalawo, obabuuze nti,

3 ‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa kyʼennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ngʼeteriimu kaabuntu?

4Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bwʼayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu abʼomu nsi,’ bwʼayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

5‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ngʼOmwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’

6 “Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Mu bbanga eritali lyʼewala ndikankanya eggulu nʼensi, nʼennyanja nʼolukalu.

7Ndikankanya amawanga gonna, nʼamawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.

8‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bwʼayogera Mukama owʼeggye.

9‘Ekitiibwa ekyʼennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa kyʼeri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”

10Awo ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya olwʼomwezi ogwʼomwenda mu mwaka ogwokubiri ogwʼokufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,

11“Bwʼatyo bwʼayogera Mukama owʼEggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba.

12Omuntu bwʼasitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge ekyʼekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’ ”

12Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”

13 Awo Kaggayi nʼabuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olwʼomulambo, bwʼakoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?” Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”

14Kaggayi nʼaddamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano nʼeggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ngʼekiweebwayo, si kirongoofu,” bwʼayogera Mukama.

15“ ‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga nʼejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama.

16Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde eyʼebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri.

17Nakolimira emirimu gyonna egyʼemikono gyammwe nʼokugengewala nʼobukuku, nʼomuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bwʼayogera Mukama.

18Okuva olunaku lwa leero, olwʼamakumi abiri mu ennya mu mwezi ogwʼomwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti,

19Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogwʼomuzabbibu nʼogwʼomutiini, nʼogwʼomukomamawanga, nʼogwʼomuzeeyituuni tegibalangako bibala.

19“ ‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’ ”

20Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olwʼamakumi abiri mu ennya olwʼomwezi ogwo nga kigamba nti,

21“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti Ndikankanya eggulu nʼensi.

22Ndisulika entebe ezʼobwakabaka ne nzigyawo obuyinza bwʼobwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali nʼabavuzi baago, nʼembalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.

23“ ‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ngʼakabonero, kubanga nkulonze,’ bwʼayogera Mukama owʼEggye.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>