1Buno bwe bubaka bwa Mukama bwe yawa Koseya mutabani wa Beeri mu mulembe gwa Uzziya, nʼogwa Yosamu, nʼogwa Akazi nʼogwa Keezeekiya, nga be bakabaka ba Yuda, ne mu mulembe gwa Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, nga ye kabaka wa Isirayiri.
2Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi ekyʼobwenzi, nʼeva ku Mukama.”
3Awo nʼawasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, nʼaba olubuto, nʼamuzaalira omwana wabulenzi.
4Mukama nʼagamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Yezuleeri, kubanga nnaatera okubonereza ennyumba ya Yeeku, olwʼokuyiwa omusaayi gwʼabantu abʼe Yezuleeri, era ndimalawo obwakabaka bwa Isirayiri.
5Ku lunaku olwo omutego gwa Isirayiri ndigumenyera mu Kiwonvu kya Yezuleeri.”
6Gomeri nʼaba olubuto olulala, nʼazaala omwana wabuwala. Mukama nʼagamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa.
7Naye abʼennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
8Awo Gomeri bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, nʼaba olubuto olulala nʼazaala omwana wabulenzi.
9Mukama nʼayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
10“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ngʼomusenyu ogwʼoku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olwʼobungi bwagwo. Mu kifo kyʼokuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu.
11Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta nʼabantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”