Koseya 10:1-15 LGCB2014 - Bible AI

1Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; nʼensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.

2Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.

2

3Olwo balyogera nti, “Tetulina kabaka kubanga tetwatya Mukama. Naye ne bwe twandibadde ne kabaka, yanditukoleddeyo ki?”

4Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ngʼomuddo ogwʼobutwa mu nnimiro ennime.

5Abatuuze bʼe Samaliya bali mu ntiisa olwʼennyana ensaanuuse eyʼe Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olwʼekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.

6Erisutulibwa nʼetwalibwa e Bwasuli nʼeweebwa kabaka omukulu ngʼekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olwʼekiteeso kye.

7Samaliya ne kabaka we balitwalibwa ngʼekibajjo ekyʼomuti ku mazzi nʼazikirizibwa.

8Ebifo ebigulumivu ebyʼobutali butuukirivu birisaanyizibwawo, kye kibi kya Isirayiri. Amaggwa nʼamatovu galimera ku byoto byabwe, ne gabibikka. Olwo ne bagamba ensozi nti, “Mutubuutikire,” nʼobusozi nti, “Mutugweko.”

8

9Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi bʼebibi mu Gibea?

10Bwe ndiba nga njagadde, ndibabonereza; amawanga galikuŋŋaana okulwana nabo, ne basibibwa mu masanga olwʼebibi byabwe ebyʼemirundi ebiri.

11Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.

12Musige ensigo ezʼobutuukirivu, mukungule ebibala ebyʼokwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lwʼalidda nʼabafukako obutuukirivu.

13Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala ebyʼobulimba. Olwʼokwesiga amaanyi go, nʼabalwanyi bo abangi,

14olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, nʼebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olwʼolutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka nʼabaana baabwe.

15Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
>