1Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri.
2Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
3Nze nayigiriza Efulayimu okutambula, nga mbakwata ku mukono; naye tebategeera nga nze nabawonya.
4Nabakulembera nʼemiguwa egyʼokusaasira okwʼobuntu, nʼebisiba ebyʼokwagala. Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe ne neetoowaza ne mbaliisa.
5Tebaliddayo mu nsi ya Misiri, era Obwasuli tebulibafuga kubanga baagaana okwenenya?
6Ekitala kirimyansiza mu bibuga byabwe ne kizikiriza ebisiba ebya wankaaki waabwe, ne kikomya enteekateeka zaabwe.
7Abantu bange bamaliridde okunvaako. Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo, taabagulumize.
8“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri? Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma? Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu? Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
9Siikole ngʼobusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula ndi Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu.
10Baligoberera Mukama; era aliwuluguma ngʼempologoma. Bwʼaliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
11Balijja nga bakankana ngʼebinyonyi ebiva e Misiri, era ngʼenjiibwa eziva mu Bwasuli. Ndibafuula abatuuze mu maka gaabwe,”