1Efulayimu alya mpewo; agoba empewo ezʼebuvanjuba olunaku lwonna, era bongera ku bulimba ne ku ttemu. Bakola endagaano nʼObwasuli, nʼaweereza nʼamafuta e Misiri.
2Mukama alina ensonga ne Yuda, era alibonereza Yakobo ngʼengeri ze bwe ziri. Amusasule ngʼebikolwa bye bwe biri.
3Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro, ne mu bukulu bwe nʼameggana ne Katonda.
4Yameggana ne malayika nʼamuwangula, nʼakaaba nʼamwegayirira. Yamusisinkana e Beseri, nʼayogera naye.
5Mukama Katonda owʼEggye, Mukama lyʼerinnya lye erijjukirwa.
6Naye oteekwa okudda eri Katonda wo; kuuma okwagala nʼobwenkanya, olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7Omusuubuzi akozesa ebipimo ebyʼobulimba, era anyumirwa okukumpanya.
8Efulayimu yeewaana ngʼayogera nti, “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi. Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi wadde okwonoona kwonna.”
9Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri; ndikuzzaayo nʼobeera mu weema nate, nga mu nnaku ezʼembaga ezaalagirwa.
10Nayogera eri bannabbi, ne mbawa okwolesebwa kungi, ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11Gireyaadi butali butuukirivu era nʼabantu baamu butaliimu. Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka, era ebyoto byabwe binaaba ngʼentuumo eyʼamayinja mu nnimiro ennime.
12Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[6] Isirayiri yaweereza okufuna omukazi, era okumufuna yalundanga ndiga.
13Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri, era nʼakozesa nnabbi okumukuuma.
14Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza, Mukama we kyaliva amutekako omusango olwʼomusaayi gwe yayiwa, nʼamusasula olwʼobunyoomi bwe.