1Efulayimu buli lwe yayogeranga, abantu baakankananga. Yagulumizibwanga mu Isirayiri. Naye bwe yayonoona olwʼokusinza Baali, nʼafa.
2Ne kaakano bongera okwonoona; ne beekolera ebifaananyi ebisaanuuse mu ffeeza yaabwe, ngʼokutegeera kwabwe bwe kuli, nga byonna mulimu gwʼabaweesi. Kigambibwa nti, “Bawaayo ssaddaaka ezʼabantu, ne banywegera ebifaananyi ebyʼennyana.”
3Kyebaliva babeera ngʼolufu olwʼoku makya, oba ngʼomusulo oguvaawo amangu, ngʼebisusunku embuyaga ze bifumuula okubiggya mu gguuliro, oba ngʼomukka ogufulumira mu ddirisa.
4“Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ya Misiri; so tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wabula nze.
5Nakulabirira mu ddungu, mu nsi eyʼekyeya ekingi.
6Bwe nabaliisa, bakkuta; bwe bakkuta ne beegulumiza, bwe batyo ne banneerabira.
7Kyendiva mbalumba ngʼempologoma, era ndibateegera ku kkubo ngʼengo.
8Ngʼeddubu erinyagiddwako abaana baalyo, ndibalumba ne mbataagulataagula. Era okufaananako ngʼempologoma bwʼekola ndibaliira eyo, ensolo eyʼomu nsiko eribataagulataagula.
9Ndibazikiriza mmwe Isirayiri, kubanga munnwanyisa.
10Kabaka wammwe ali wa, abalokole? Abafuzi abʼomu bibuga byo byonna bali ludda wa, be wayogerako nti, ‘Tuwe kabaka nʼabafuzi?’
11Nabawa kabaka nga nsunguwadde, ate ne mmubaggyako nga ndiko ekiruyi.
12Omusango gwa Efulayimu guterekeddwa, era nʼekibi kye kimanyiddwa.
13Obubalagaze ngʼobwʼomukyala alumwa okuzaala bumujjira, naye omwana olwʼobutaba nʼamagezi, ekiseera bwe kituuka, tavaayo mu lubuto.
14Ndibanunulayo mu maanyi gʼemagombe, era ndibalokola mu kufa. Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa? Ggwe magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? Sirimusaasira,
15ne bwʼanaakulaakulana mu baganda be. Empewo eyʼebuvanjuba erijja okuva eri Mukama, ngʼeva mu ddungu, nʼensulo ze ne zikalira, nʼoluzzi lwe ne lukalira. Eggwanika lye lirinyagibwa, ebyʼomuwendo byonna ne bitwalibwa.
16Abantu bʼe Samaliya balivunaanibwa omusango gwabwe kubanga bajeemedde Katonda waabwe. Balittibwa nʼekitala, nʼabaana baabwe abato balibetentebwa, nʼabakyala baabwe abali embuto balibaagibwa.”