Koseya 2:1-23 LGCB2014 - Bible AI

1“Mwogere ku baganda bammwe nti, ‘bantu bange,’ mwogere ne ku bannyinammwe nti, ‘baagalwa bange.’ ”

2Munenye nnyammwe, mumunenye, kubanga si mukazi wange, so nange siri bba. Aggyewo obukaba obuli mu maaso ge, nʼobwenzi obuva wakati wʼamabeere ge;

3nneme okumwambulira ddala ne mmulekeraawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalibwa; ne mmufuula ngʼeddungu, ne mmulekawo ngʼensi enkalu eteriiko kyʼegasa, ne mmussa ennyonta.

4Sirilaga kwagala kwange eri abaana be, kubanga baana ba bwenzi.

5Nnyabwe yakola obwenzi, nʼabazaalira mu buwemu. Yayogera nti, “Ndigenda eri baganzi bange abampa emmere nʼamazzi, nʼebimbugumya nʼebyokwambala, nʼamafuta nʼekyokunywa.”

6Kyendiva nziba ekkubo lye nʼamaggwa, ne mmuzimbako bbugwe okumwetooloola, aleme okulaba ekkubo wayitira.

7Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate, naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba. Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka, kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga bwe ndi kaakano.”

8Tajjukira nga nze namuwanga eŋŋaano, ne wayini nʼamafuta, era eyamuwa effeeza ne zaabu bye baakozesanga okuweerezanga Baali.

9“Kyendiva neddiza emmere yange eyʼempeke ngʼeyengedde, ne wayini wange ngʼatuuse; era nzija kumuggyako ebyambalo byange ebyʼebbugumu nʼebyambalo byange ebya bulijjo, bye yayambalanga.

10Era kyenaava nyanika obukaba bwe mu maaso ga baganzi be, so tewaliba amuwonya mu mukono gwange.

11Ndikomya ebinyumu bye byonna, nʼembaga ze eza buli mwaka, nʼembaga ze ezʼemyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, nʼenkuŋŋaana ze zonna entukuvu.

12Ndizikiriza emizabbibu gye nʼemitiini gye, gye yayogerako nti, ‘Guno gwe musaala baganzi bange gwe bansasula.’ Ndibizisa, era nʼensolo ezʼomu nsiko ziribyonoona.

13Ndimubonereza olwʼennaku ze yayotereza obubaane eri Babaali, ne yeeyambaza empeta nʼebintu ebyʼomuwendo ennyo, nʼagenda eri baganzi be, naye nze nʼaneerabira,”

13bwʼayogera Mukama.

14Kale kyendiva musendasenda, ne mmutwala mu ddungu, ne njogera naye nʼeggonjebwa.

15Era eyo ndimuddiza ennimiro ze ezʼemizabbibu, ne nfuula Ekiwonvu kya Akoli[1] oluggi olwʼessuubi. Alimpuliriza nga bwe yampulirizanga mu nnaku ezʼobuvubuka bwe, era nga mu biro bye yaviira mu nsi ya Misiri.

16“Ku lunaku olwo,” bwʼayogera Mukama, “olimpita nti, ‘mwami wange;’ toliddayo nate kumpita, ‘Mukama wange.’ ”

17Ndiggya amannya ga Babaali mu kamwa ke, so taliddayo nate okwasanguza amannya gaabwe.

18Ku lunaku olwo ndibakolera endagaano nʼensolo ezʼomu nsiko nʼennyonyi ezʼomu bbanga, nʼebyewalula ku ttaka, era ndiggyawo obusaale, nʼekitala, nʼentalo mu nsi, bonna ne batuula mirembe.

19Era ndikwogereza ennaku zonna, ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima, ne mu kwagala ne mu kusaasira.

20Ndikwogereza mu bwesigwa, era olimanya Mukama.

21“Ku lunaku olwo, ndyanukula eggulu, nalyo ne lyanukula ensi;

22ensi erimeramu emmere eyʼempeke, ne wayini nʼamafuta, nabyo ne bifunibwa Yezuleeri,[2] bwʼayogera Mukama.

23“Ndimwesimbira mu nsi, ndisaasira oyo eyayitibwanga nti, atasaasirwa, era ndigamba abataali bantu bange nti, ‘Bantu bange,’ era nabo balyogera nti, ‘Ggwe Katonda wange.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.