Koseya 3:1-5 LGCB2014 - Bible AI

1Mukama nʼaŋŋamba nti, “Genda, mukyala wo oyongere okumwagala, newaakubadde nga mwenzi era yakwaniddwa omusajja omulala. Mwagale nga Mukama bwʼayagala Abayisirayiri newaakubadde nga bakyukira bakatonda abalala ne baagala obugaati obwʼemizabbibu enkalu obuwonge eri bakatonda abalala.”

2Awo ne mmugula nʼeffeeza obuzito bwayo gulaamu kikumi mu nsavu ne lita ebikumi bisatu mu amakumi asatu eza sayiri.

3Bwe ntyo ne mugamba nti, “Oteekwa okubeera nange ebbanga lyonna. Lekeraawo okukuba obwamalaaya, oba okukola obwenzi, nange bwe ntyo naabeeranga naawe.”

4Era bwe batyo abaana ba Isirayiri bwe balibeera okumala ennaku ennyingi nga tebalina kabaka newaakubadde omulangira, nga tebakyawaayo ssaddaaka eri bakatonda abalala, newaakubadde okusinza amayinja amawonge oba bakatonda abalala, wadde efodi.

5Nʼoluvannyuma abaana ba Isirayiri balidda ne banoonya Mukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe. Balijja eri Mukama nga bakankana nga banoonya emikisa gye mu nnaku ezʼoluvannyuma.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>