Koseya 4:1-19 LGCB2014 - Bible AI

1Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri, kubanga Mukama abalinako ensonga mmwe abatuula mu nsi. “Obwesigwa nʼokwagala Katonda, nʼokumumanya bikendedde mu nsi.

2Waliwo okukolima, nʼokulimba, nʼokutta, nʼokubba, nʼokukola ebyʼobwenzi; bawaguza, era bayiwa omusaayi obutakoma.

3Ensi kyeneeva ekaaba, ne bonna abagibeeramu ne bafuuka ekitagasa; nʼensolo enkambwe ezʼomu nsiko zirifa, nʼennyonyi ezʼomu bbanga nazo zirifa, nʼebyennyanja ebiri mu nnyanja ne bifa.”

3

4“Naye temuloopagana, so tewabaawo muntu avunaana munne, kubanga ensonga ngivunaana gwe kabona.

5Wakola ebibi emisana nʼekiro, ne bannabbi ne babikolera wamu naawe; kyendiva nzikiriza maama[3] wo.

6Abantu bange bazikiridde olwʼobutamanya.”

6“Kyemunaava mulema okubeera bakabona bange; era olwʼokulagajjalira etteeka lya Katonda wo, nange kyendiva ndagajjalira abaana bo.

7Gye beeyongera okuba abangi, gye baakoma nʼokukola ebibi; baasuula ekitiibwa kyabwe ne banswaza.

8Bagaggawalira ku bibi byʼabantu bange, era basemba okwonoona kwabwe.

9Era bwe kityo bwe kiriba eri abantu nʼeri bakabona: ndibabonereza olwʼenneeyisa yaabwe, era ne mbasasula ngʼebikolwa byabwe.”

9

10“Balirya naye tebalikkuta, balikola ebibi ebyʼobwenzi kyokka tebalyeyongera bungi, kubanga bavudde ku Mukama ne beewaayo

11eri obwenzi, wayini omukadde nʼomusu, ne bibamalamu okutegeera.

12Abantu bange beebuuza ku kikonge kyʼomuti, ne baddibwamu omuti. Omwoyo ogwʼobwenzi gubasendasenda ne gubaleetera obutaba beesigwa eri Katonda waabwe.

13Baweerayo ssaddaaka ku ntikko zʼensozi, ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi, wansi wʼemyalooni, nʼemiribine nʼemyera awali ekisiikirize ekirungi. Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya, ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.”

13

14“Siribonereza bawala bammwe olwʼokubeera bamalaaya, newaakubadde baka baana bammwe okukola ebyʼobwenzi, kubanga abasajja bennyini bassa bumu ne bamalaaya, ne baweerayo ssaddaaka ne bamalaaya abʼomu masabo; abantu abatategeera balizikirira.”

14

15“Newaakubadde ggwe Isirayiri oyenda, omusango guleme okuba ku Yuda. Togenda Girugaali, newaakubadde okwambuka e Besaveni.[4] Tolayiranga nti, ‘Nga Katonda bwʼali omulamu.’

16Abayisirayiri bakakanyavu mu mitima ngʼennyana endalu. Olwo Mukama ayinza atya okubalabirira ngʼabaana bʼendiga abali mu kisibo?

17Efulayimu yeegasse nʼabasinza ebifaananyi, mumuleke abeere yekka.

18Ebyokunywa ne bwe bibaggwaako, beeyongera mu bwamalaaya; nʼabakulembeze baabwe baagala nnyo ebyʼensonyi:

19Embuyaga kyeziriva zibatwala, ne ssaddaaka zaabwe ne zibaswaza.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.