1Muwulire kino mmwe bakabona!Musseeyo omwoyo, mmwe Isirayiri!Muwulirize, mmwe ennyumba ya Kabaka!Omusango guli ku mmwe:Mubadde kyambika e Mizupa,era ekitimba ekitegeddwa ku Taboli.
2Abajeemu bamaliridde okutta,naye ndi babonereza bonna.
3Mmanyi byonna ebikwata ku Efulayimu,so ne Isirayiri tankisibwa.Efulayimu weewaddeyo okukuba obwamalaaya,ne Isirayiri yeeyonoonye.
3
4Ebikolwa byabwe tebibaganyakudda eri Katonda waabwe,kubanga omwoyo ogwʼobwamalaaya guli mu mitima gyabwe,so tebamanyi Mukama.
5Amalala ga Isirayiri gabalumiriza;Abayisirayiri ne Efulayimu balyesittala olwʼomusango gwabwe;ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
14Kyendiva mbeera ngʼempologoma eri Efulayimu,era ngʼempologoma eyʼamaanyi eri ennyumba ya Yuda.Ndibataagulataagula ne ŋŋenda;ndibeetikka ne mbatwala, ne babulwako ayinza okubawonya.
15Ndiddayo mu kifo kyange,okutuusa lwe balikkiriza omusango gwabwe.Balinnoonya,mu buyinike bwabwe, balinnoonya nʼomutima gwabwe gwonna.”