Koseya 6:1-11 LGCB2014 - Bible AI

1“Mujje, tudde eri Mukama. Atutaaguddetaagudde, naye alituwonya; atuleeseeko ebiwundu, naye ebiwundu alibinyiga.

2Oluvannyuma olwʼennaku bbiri alituzzaamu obulamu, era ku lunaku olwokusatu alituzza buggya, ne tubeera balamu mu maaso ge.

3Tumanye Mukama; tunyiikire okumumanya. Ngʼenjuba bwʼevaayo enkya, bwʼatyo bwʼalirabika; alijja gye tuli ngʼenkuba eyʼomu kiseera kyʼomuzira, era ngʼenkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

4Nkukolere ki, Efulayimu? Nkukolere ki, Yuda? Okwagala kwo kuli ngʼolufu olwʼenkya, era ngʼomusulo ogwʼenkya ogukala amangu.

5Kyenvudde nkozesa bannabbi okubasalaasala ebitundutundu, ne mbatta nʼebigambo ebyʼomu kamwa kange, era ne mbasalira emisango ngʼokumyansa okwʼeggulu.

6Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka, era nʼokumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

7Okufaanana nga Adamu, bamenye endagaano, tebaali beesigwa.

8Gireyaadi kibuga kyʼabakozi ba bibi, era engalo zaabwe zijjudde omusaayi.

9Ngʼabatemu bwe bateegerera omuntu mu kkubo, nʼebibiina bya bakabona bwe bityo bwe bittira ku luguudo olugenda e Sekemu, ne bazza emisango egyʼobuswavu.

10Ndabye ebyʼekivve mu nnyumba ya Isirayiri; era eyo Efulayimu gye yeeweereddeyo mu bwamalaaya, ne Isirayiri gyʼayonoonekedde.

11Naawe Yuda, amakungula gatuuse.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.