1Bwe ndikomyawo emikisa gyʼabantu bange, na buli lwe nawonyanga Isirayiri, ebibi bya Efulayimu ne birabika, nʼebikolwa ebyʼekyejo ebya Samaliya nabyo ne birabika. Balimba, bamenya ne bayingira mu mayumba, era batemu abateega abantu mu makubo.
2Naye tebalowooza nga nzijukira ebikolwa byabwe byonna ebibi. Ebibi byabwe bibazingizza, era mbiraba.
3Kabaka asanyukira obutali butuukirivu bwabwe, nʼabakungu basanyukira obulimba bwabwe.
4Bonna benzi; bali ngʼekyoto ekyaka omuliro, omufumbi wʼemigaati gwʼateetaaga kuseesaamu okutuusa obutta bwʼagoye, lwabuusa ku kyoto ne buzimbulukuka.
5Ku lunaku kabaka lwʼagabula embaga, abakungu ettamiiro lya wayini ne libalwaza, kabaka ne yeegatta nʼabanyoomi.
6Emitima gyabwe gyokerera nga oveni mu busungu bwabwe; Obusungu bwabwe bubuguumirira ekiro kyonna; mu makya ne bwaka ngʼomuliro.
7Bonna bookya nga oveni, era bazikiriza abakulembeze baabwe. Bakabaka baabwe bonna bagudde; tewali nʼomu ku bo ankowoola.
8“Efulayimu yeegattika ne bannaggwanga; Efulayimu mugaati oguyiddeko oluuyi olumu.
9Bannaggwanga banyuunyunta amaanyi ge naye takimanyi. Mu nviiri ze mulimu envi, naye takiraba.
10Okwekulumbaza kwa Isirayiri kwe kubalumiriza, naye newaakubadde ngʼebyo byonna bimutuuseeko tadda eri Mukama Katonda we newaakubadde okumunoonya.
11Efulayimu ali ngʼejjiba, alimbibwalimbibwa mangu era talina magezi; bakaabira Misiri, era bagenda eri Obwasuli.
12Bwe baliba balaga eyo, ndibasuulako akatimba, era ndibassa wansi ngʼennyonyi ezʼomu bbanga. Bwe ndiwulira nga bakuŋŋaana, ndibaziyiza.
13Zibasanze, kubanga bawabye ne banvaako. Baakuzikirira kubanga banjemedde. Njagala nnyo okubanunula, naye banjogerako ebyʼobulimba.
14Tebankaabira nʼemitima gyabwe, wabula ebiwoobe babikubira ku bitanda byabwe. Bakuŋŋaana awamu olwʼemmere eyʼempeke ne wayini, naye ne banjeemera.
15Nabayigiriza ne mbawa nʼamaanyi, naye bansalira enkwe.
16Tebakyukira oyo Ali Waggulu Ennyo; bafuuse ngʼomutego gwʼakasaale ogwayonooneka; abakulembeze baabwe balifa kitala, olwʼebigambo byabwe ebyakalebule. Era kyebaliva babasekerera mu nsi yʼe Misiri.”