1“Ffuwa ekkondeere. Empungu eri ku nnyumba ya Mukama kubanga abantu bamenye endagaano yange ne bajeemera amateeka gange.
2Isirayiri bankaabira nga boogera nti, ‘Katonda waffe, tukumanyi.’
3Naye Isirayiri baleseeyo ekirungi; omulabe kyaliva abayigganya.
4Balonda bakabaka nga sikkirizza, balonda abakulembeze be sikakasizza. Beekolera ebifaananyi ebyole mu ffeeza yaabwe ne mu zaabu yaabwe ebiribaleetera okuzikirira.
5Kanyuga ebweru ekifaananyi kyʼennyana yo, ggwe Samaliya. Obusungu bwange bubabuubuukirako. Balituusa ddi okuba abatali batuukirivu?
6Bava mu Isirayiri. Ennyana eyo omuntu eyakuguka mu byʼokuweesa, ye yagikola so si Katonda. Era ennyana eyo eya Samaliya eribetentebwa.
7Basiga empewo, ne bakungula embuyaga. Ekikolo olwʼobutaba na mutwe, kyekiriva kirema okubala ensigo. Naye ne bwe kyandibaze, bannaggwanga bandigiridde.
8Isirayiri amaliddwawo; ali wakati mu mawanga ngʼekintu ekitagasa.
9Bambuse ne bagenda eri Obwasuli, ngʼendogoyi eyʼomu nsiko eri yokka. Efulayimu aguliridde abaganzi.
10Newaakubadde nga beetunze eri amawanga, ndibakuŋŋaanya, era ndibawaayo eri okubonaabona nga banyigirizibwa kabaka owʼamaanyi.
10
11“Newaakubadde nga Efulayimu baazimba ebyoto bingi ebyʼebiweebwayo olwʼekibi, bifuuse byoto bya kukolerako bibi.
12Nabawandiikira ebintu bingi mu mateeka gange, naye ne babifuula ekintu ekigwira.
13Bawaayo ebiweebwayo gye ndi, ne balya ennyama yaabyo, Mukama tabasanyukira. Kaakano alijukira obutali butuukirivu bwabwe nʼababonereza olwʼebibi byabwe: Baliddayo e Misiri.
14Isirayiri yeerabidde omutonzi we, nʼazimba embiri, ne Yuda ne yeeyongera okuzimba ebibuga ebiriko bbugwe; naye ndisindika omuliro ku bibuga byabwe, ne gwokya ebigo byabwe.”