Koseya 9:1-17 LGCB2014 - Bible AI

1Tosanyuka ggwe Isirayiri; tojaguza ngʼamawanga amalala, kubanga tobadde mwesigwa eri Katonda wo, weegomba empeera eya malaaya ku buli gguuliro.

2Egguuliro nʼessogolero tebiribaliisa, ne wayini omusu alibaggwaako.

3Tebalisigala mu nsi ya Mukama; Efulayimu aliddayo e Misiri nʼalya emmere etali nnongoofu mu Bwasuli.

4Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama, so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa. Ssaddaaka zaabwe ziriba ngʼemmere eyʼabakungubazi, ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu. Emmere eyo eriba yaabwe bo, so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.

4

5Kiki kyʼolikola ku lunaku olwʼembaga ezaalondebwa, ku lunaku olwʼembaga ya Mukama?

6Ne bwe baliwona okuzikirira, Misiri alibakuŋŋaanya, ne Menfisi alibaziika. Ebyʼobugagga byabwe ebya ffeeza birizika, nʼeweema zaabwe zirimeramu amaggwa.

7Ennaku ezʼokubonerezebwa zijja, ennaku ezʼokusasulirwamu ziri kumpi. Ekyo Isirayiri akimanye. Olwʼebibi byammwe okuba ebingi ennyo, nʼobukambwe bwammwe obungi, nnabbi ayitibwa musirusiru, nʼoyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.

8Nnabbi awamu ne Katonda wange ye mukuumi wa Efulayimu,[5] newaakubadde nga waliwo emitego mu kkubo lye, nʼobukambwe mu nnyumba ya Katonda we.

9Boonoonye nnyo nnyini nga mu nnaku ezʼe Gibea. Katonda alijjukira obutali butuukirivu bwabwe, nʼababonereza olwʼebibi byabwe.

9

10We nasangira Isirayiri, kyali nga kulaba zabbibu mu ddungu. Bwe nalaba bajjajjammwe, kyali nga kulaba ebibala ebisooka ku mutiini. Naye bwe bajja e Baalipyoli, beewonga eri ekifaananyi ekyʼensonyi, ne bafuuka ekyenyinnyalwa ngʼekifaananyi kye baayagala.

11Ekitiibwa kya Efulayimu kiribuuka ne kigenda ngʼekinyonyi nga tewali kuzaala, newaakubadde okuba olubuto newaakubadde okufuna olubuto.

12Ne bwe balikuza abaana baabwe, ndibabaggyako bonna. Ziribasanga bwe ndibavaako.

13Nalaba Efulayimu ngʼasimbiddwa mu kifo ekirungi, nga Ttuulo bwʼali. Naye Efulayimu alifulumya abaana be ne battibwa.

14Bawe Ayi Mukama Katonda. Olibawa ki? Leetera embuto zaabwe okuvaamu obawe nʼamabeere amakalu.

15Olwʼebibi byabwe byonna mu Girugaali, kyennava mbakyayira eyo. Olwʼebikolwa byabwe ebitali bya butuukirivu, kyendiva mbagoba mu nnyumba yange. Siribaagala nate; abakulembeze baabwe bonna bajeemu.

16Efulayimu balwadde, emirandira gyabwe gikaze, tebakyabala bibala. Ne bwe balizaala abaana baabwe, nditta ezzadde lyabwe lye baagala ennyo.

17Katonda wange alibavaako kubanga tebamugondedde; baliba momboze mu mawanga.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.