1Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe,
2ngʼabo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza bʼEkigambo okuviira ddala ku lubereberye.
3Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu nʼobwegendereza okuva ku byʼolubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro owʼekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana.
4Olyoke omanye amazima gʼebyo bye wayigirizibwa.
5Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi.
6Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa.
7Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.
8Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ngʼali ku mulimu gwe ogwʼobwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera ekyʼoluwalo lwe,
9nʼalondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ngʼemirimu gyʼobwakabona bwe gyabanga.
10Mu ssaawa eyo eyʼokwoteza obubaane ekibiina kyonna ekyʼabantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.
11Awo malayika wa Mukama nʼalabikira Zaakaliya, nʼayimirira ku luuyi olwa ddyo olwʼekyoto okwoterezebwa obubaane!
12Zaakaliya nʼatya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa nʼemukwata.
13Naye malayika nʼamugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana.
14Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olwʼokuzaalibwa kwe.
15Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ngʼakyali mu lubuto lwa nnyina.
16Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe.
17Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, nʼakyusa emitima gyʼaba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, nʼokukyusa emitima gyʼabajeemu okudda eri amagezi gʼabatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”
18Zaakaliya nʼagamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”
19Malayika nʼamugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era yʼantumye okwogera naawe nʼokukuleetera amawulire gano.
20Naye olwʼokuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ngʼebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”
21Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bwʼatyo.
22Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. Nʼasigala ngʼazibye omumwa naye ngʼabategeeza mu bubonero.
23Nʼabeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ezʼoluwalo lwe zaggwaako nʼalyoka addayo eka.
24Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi nʼaba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano.
25Nʼagamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olwʼobutaba na mwana.”
26Awo mu mwezi ogwʼomukaaga, Katonda nʼatuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi ekyʼomu Ggaliraaya
27eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, owʼomu lulyo lwa Dawudi.
28Awo Gabulyeri nʼalabikira Maliyamu nʼamulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”
29Maliyamu nʼatya, nʼabulwa nʼekyokwogera, ngʼokulamusa okwo kumutabudde, nga nʼamakulu gaakwo tagategeera.
30Awo malayika nʼamugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda.
31Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu.
32Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana wʼOyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe eyʼobwakabaka eya jjajjaawe Dawudi.
33Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era nʼobwakabaka bwe tebulikoma.”
34Awo Maliyamu nʼabuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”
35Malayika nʼamuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, nʼamaanyi gʼOyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, nʼomwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda.
36Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe.
37Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”
38Maliyamu nʼaddamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bwʼogambye.” Malayika nʼava wʼali, nʼagenda.
39Awo mu biro ebyo, Maliyamu nʼayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya eyʼensozi, mu kibuga kyayo.
40Nʼayingira mu nnyumba ya Zaakaliya nʼalamusa Erisabesi.
41Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi nʼabuukabuuka era nʼajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu.
42Erisabesi nʼalyoka ayogerera mu ddoboozi eryʼomwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era nʼomwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa.
43Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira!
44Kubanga bwʼoyingidde nʼonnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olwʼessanyu!
45Oweereddwa omukisa bwʼokkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”
46Maliyamu nʼagamba nti,
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56Maliyamu nʼamala ewa Erisabesi muganda we, ngʼemyezi esatu, nʼalyoka addayo ewuwe.
57Awo ekiseera kya Erisabesi ekyʼokuzaala ne kituuka, nʼazaala omwana wabulenzi.
58Baliraanwa ba Erisabesi nʼabʼekika kye ne bawulira nga Mukama bwʼamulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.
59Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti Ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya.
60Naye Erisabesi nʼabagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”
61Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”
62Ne babuuza kitaawe wʼomwana erinnya lyʼayagala atuumibwe.
63Nʼabasaba ekyʼokuwandiikako, nʼawandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo!
64Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, nʼolulimi lwe ne lusumulukuka, nʼatandika okwogera nʼokutendereza Katonda.
65Abantu bonna abʼomu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna eyʼe Buyudaaya eyʼensozi.
66Buli eyawulira ebigambo ebyo nʼabirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bwʼalikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.
67Awo Zaakaliya kitaawe, nʼajjula Mwoyo Mutukuvu nʼawa obunnabbi nti,
68
69
70
71
72
73
74
75
76
77
78
79
80Omwana nʼakula nʼayongerwako amaanyi mu mwoyo, nʼabeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.