10Naye bwe muyingiranga mu kibuga kyonna ne batabaaniriza, mulaganga mu nguudo zaakyo ne mugamba nti,
11‘Nʼenfuufu ekwatidde ku bigere byaffe tugibakunkumulira. Naye mumanye kino nti Obwakabaka bwa Katonda busembedde.’
12Mbategeeza nti Ku lunaku luli, Sodomu kigenda kugumiikirizika okusinga ekibuga ekyo.
13“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Naawe zikusanze, Besusayida! Kubanga ebyamagero ekyakolerwa mu mmwe, singa byakolerwa mu Ttuulo ne mu Sidoni, abantu baamu bandibadde beenenya dda, nga bambadde nʼebikutiya ebikadde nga batudde mu vvu okulaga nti beenenyezza.
14Naye Ttuulo ne Sidoni birisaasirwa okusinga mmwe ku lunaku olwʼokusalirako omusango.
25Kale laba omunnyonnyozi wʼamateeka nʼasituka, ngʼayagala okugezesa Yesu, nʼamubuuza nti, “Omuyigiriza, nsaana nkole ki okusikira obulamu obutaggwaawo?”
26Yesu nʼamuddamu nti, “Kyawandiikibwa kitya mu mateeka? Gagamba gatya?”
27ⓙ Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼaddamu nti, “ ‘Yagalanga Mukama Katonda wo nʼomutima gwo gwonna, nʼemmeeme yo yonna, nʼamaanyi go gonna, nʼamagezi go gonna.’ Era ‘yagalanga muliraanwa wo nga naawe bwe weeyagala.’ⓚ ”
28Yesu nʼamugamba nti, “Ozzeemu bulungi. Kale kolanga bwʼotyo oliba mulamu.”
29Naye omunnyonnyozi wʼamateeka okwagala okulaga nga bwʼali omutuufu nʼagamba Yesu nti, “Muliraanwa wange ye ani?”
30Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omuntu eyali ava e Yerusaalemi ngʼaserengeta e Yeriko, nʼagwa mu banyazi, ne bamukwata ne bamwambulamu engoye ze ne bazimutwalako, ne bamukuba nnyo, ne bamuleka awo ku kkubo ngʼabulako katono okufa.
31Awo kabona eyali tategedde nʼajjira mu kkubo eryo, naye bwe yatuuka ku musajja ngʼagudde awo ku kkubo nʼamwebalama bwebalami nʼamuyitako.