Lukka 11:1-54 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka Yesu ngʼali mu kifo ekimu ngʼasaba, bwe yamaliriza, omu ku bayigirizwa be nʼamugamba nti, “Mukama waffe, naawe tuyigirize okusaba nga Yokaana bwe yayigiriza abayigirizwa be.”

2Nʼabagamba nti, “Bwe mubanga musaba mugambanga nti, ‘Kitaffe,[7] Erinnya lyo litukuzibwe, obwakabaka bwo bujje.

3Otuwenga buli lunaku emmere yaffe eyʼolunaku.

4Era otusonyiwe ebyonoono byaffe, nga naffe bwe tusonyiwa abatukolako ebisobyo. So totutwala mu kukemebwa.’ ”

5Ate nʼabagamba nti, “Singa omu ku mmwe alina mukwano gwe, nʼajja gyʼali ekiro mu ttumbi nʼamugamba nti, ‘Mukwano gwange, nkusaba ompoleyo emigaati esatu,

6kubanga nfunye omugenyi, mukwano gwange avudde lugendo, naye sirina kyakulya kya kumuwa.’ ”

7“Oli ali munda mu nju bwʼayanukula nti, ‘Tonteganya. Twasibyewo dda, ffenna nʼabaana bange twebisse. Noolwekyo siyinza kugolokoka kaakano ne mbaako kye nkuwa.’

8Naye mbategeeza nti, Newaakubadde nga tagolokoka nʼamuyamba nga mukwano gwe, naye, singa akonkona nʼamwetayirira, alwaddaaki agolokoka nʼamuwa byʼamusabye.

9“Bwe ntyo mbagamba nti, musabe munaaweebwa, munoonye mulizuula, mukonkone era munaggulirwawo.

10Kubanga buli asaba, aweebwa, nʼoyo anoonya, azuula, era nʼakonkona aggulirwawo.

11“Ani ku mmwe kitaawe wʼomwana, omwana we ngʼamusabye ekyennyanja, mu kifo kyʼekyennyanja nʼamuwa omusota?

12Oba ngʼamusabye eggi nʼamuwa enjaba?

13Kale obanga mmwe ababi muwa abaana bammwe ebirungi, Kitammwe ali mu ggulu talisinga nnyo okubawa Mwoyo Mutukuvu abo abamusaba?”

14Lwali lumu Yesu nʼagoba dayimooni ku musajja eyali tayogera. Dayimooni bwe yamuvaako, omusajja oyo nʼayogera, ekibiina ne kyewuunya.

15Naye abantu abamu ne bagamba nti, “Agoba baddayimooni, kubanga amaanyi gʼakozesa agaggya wa Beeruzebuli omukulu wa baddayimooni!”

16Abalala ne bamusaba akabonero akava mu ggulu nga bamugezesa.

17Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, kwe kubagamba nti, “Obwakabaka bwe bulwanagana bwokka, buba bwolekedde kuzikirira, amaka bwe gayawukanamu gokka ne gokka gasasika.

18Noolwekyo, singa Setaani yeerwanyisa yekka obwakabaka bwe buyinza butya okuyimirirawo? Kubanga mugamba nti ngoba baddayimooni ku lwa Beeruzebuli.

19Era obanga Nze ngoba baddayimooni ku bwa Beeruzebuli kale abaana bammwe bo babagoba ku bwʼani? Be bagenda okubasalira omusango.

20Naye obanga ngoba baddayimooni nʼengalo ya Katonda, ekyo kikakasa nti Obwakabaka bwa Katonda buzze gye muli.

21“Kubanga omuntu owʼamaanyi bwʼakuuma amaka ge, nga yenna yeesibye ebyokulwanyisa ebyʼamaanyi, tewaba ayinza kumutwalako bintu bye.

22Naye omuntu omulala amusinza amaanyi bwʼamulumba amuggyako ebyokulwanyisa bye, bye yali yeesiga, nʼatwala ebintu bye byonna, nʼabigabira abalala.

23“Oyo atali ku ludda lwange, mulabe wange, nʼoyo atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.

24“Omwoyo omubi bwe guva mu muntu gugenda mu kifo ekitaliimu mazzi nga gunoonya ekiwummulo. Bwe gubulwa, gugamba nti, ‘Nzija kuddayo mu nnyumba yange mwe nava.’

25Bwe gukomawo gusanga ennyumba ngʼeyereddwa era ngʼetegekeddwa.

26Kyeguva gugenda ne gufunayo emyoyo emirala musanvu egigusinga obubi, gyonna ne giyingirira omuntu oyo. Kale embeera yʼomuntu oyo eyʼoluvannyuma nʼebeera mbi nnyo okusinga eyasooka.”

27Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera ebigambo ebyo, omukazi eyali mu kibiina nʼayogerera waggulu nti, “Lulina omukisa olubuto olwakuzaala, nʼamabeere kwe wayonka!”

28Naye Yesu nʼaddamu nti, “Weewaawo, naye balina omukisa abo bonna abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

29Awo abantu bwe beeyongera okukuŋŋaana abangi, Yesu nʼabayigiriza ngʼagamba nti, “Omulembe guno mulembe mubi. Gunoonya akabonero, naye tegujja kukaweebwa okuggyako akabonero aka Yona.

30Kubanga nga Yona bwe yali akabonero eri abantu bʼe Nineeve, Omwana wʼOmuntu, bwʼajja okuba eri abʼomulembe guno.

31Era ku lunaku olwʼokusalirako omusango, kabaka omukazi owʼomu bukiikaddyo alisaliza abantu abʼomulembe guno omusango okubasinga, kubanga yava ku nkomerero yʼensi okujja okuwuliriza amagezi ga Sulemaani, naye oyo asinga Sulemaani ali wano.

32Abantu bʼe Nineeve baliyimirira ne basaliza abantu bʼomulembe guno omusango okubasinga, kubanga beenenya bwe baawulira okubuulira kwa Yona, naye kaakano oyo asinga Yona ali wano.”

33“Omuntu takoleeza ttaala nʼagikweka, oba nʼagivuunikako akalobo! Naye agiwanika ku kikondo kyʼettaala nʼemulisiza bonna abayingira basobole okulaba.

34Ettaala yʼomubiri lye liiso lyo. Eriiso lyo bwe liba eddamu, nʼomubiri gwo gwonna guba gujjudde omusana. Naye eriiso bwe liba eddwadde, omubiri gwo gujjula ekizikiza.

35Noolwekyo weekuume ekizikiza kireme kugoba musana oguli mu ggwe.

36Singa omubiri gwo gwonna gujjula omusana, ne gutabaamu kizikiza nʼakatono gujja kwakaayakana nga gwe bamulisizzaamu ettaala.”

37Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera, Omufalisaayo nʼamuyita okulya emmere mu maka ge, bwʼatyo nʼagenda nʼayingira nʼatuula okulya.

38Naye Omufalisaayo eyamuyita bwe yalaba nga Yesu atandise okulya nga tasoose kunaaba mu ngalo, ne yeewuunya.

39Awo Mukama waffe nʼamugamba nti, “Mmwe Abafalisaayo, munaaza kungulu ku kikopo ne ku ssowaani, naye nga munda wammwe mujjudde omululu nʼebitali bya butuukirivu.

40Basirusiru mmwe eyakola ebweru si ye yakola ne munda?

41Naye singa munaddira ebiri munda ne mubiwaayo ngʼekiweebwayo, olwo buli kintu kinaaba kirongoofu eri Katonda.

42“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwegendereza ne muwaayo ekimu ekyʼekkumi kyonna kye mufuna, ne ku buli kika kya muddo oguwunyisa obulungi era oguwoomesa enva, naye ne mutassaayo mwoyo ku bwenkanya nʼokwagala Katonda. Kirungi okukola ebyo byonna, naye era nʼebirala temusaanye kubiragajjalira.

43“Zibasanze mmwe Abafalisaayo! Kubanga mwagala nnyo okutuula ku ntebe ezʼekitiibwa mu makuŋŋaaniro, era nʼokulamusibwa mu butale ngʼabantu babawa ekitiibwa.

44“Zibasanze! Kubanga muli ngʼamalaalo, agatalabika abantu kwe batambulira ngʼekiri munda tebakimanyi.”

45Omu ku bannyonnyozi bʼamateeka nʼamwanukula nti, “Omuyigiriza bwʼoyogera bwʼotyo naffe oba ngʼatuvumiddemu.”

46Yesu nʼamuddamu nti, “Nammwe zibasanze abannyonnyozi bʼamateeka! Kubanga mutikka abantu emigugu emizito egyʼamateeka gʼeddiini, so nga mmwe temusobola na kukwata na lugalo lwammwe ku migugu egyo.

47“Zibasanze! Kubanga muzimbira bannabbi ebijjukizo, so nga bajjajjammwe be baabatta.

48Noolwekyo mulaga nga bwe muwagira ebikolwa bya bajjajjammwe ebyʼobutemu. Bo batta ate mmwe ne muzimba ebijjukizo.

49Noolwekyo Katonda mu magezi ge, kyeyava agamba nti, ‘Ndibaweereza bannabbi nʼabatume, abamu balibatta nʼabalala balibayigganya.’

50Era abʼomulembe guno kyemuliva muvunaanibwa olwʼomusaayi gwa bannabbi bonna okuviira ddala ku kutondebwa kwʼensi,

51okuva ku musaayi gwa Aberi okutuuka ku musaayi gwa Zaakaliya, eyattirwa wakati wʼekyoto kyʼebiweebwayo nʼennyumba ya Katonda. Mmwe abʼomulembe guno mbategeeza nti Mugenda kuvunaanibwa olwʼebyo byonna.

52“Zibasanze, mmwe abannyonnyozi bʼamateeka! Kubanga mwafuna ekisumuluzo ekyʼamagezi naye mmwe bennyini ne mutayingira, ate ne muziyiza nʼabalala okuyingira.”

53Yesu bwe yava mu nnyumba eyo, Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne batandika okumuteganya nʼokumukambuwalira ennyo nʼokumubuuza ebibuuzo bingi awatali kusalako,

54nga bamutega bamukwase mu bigambo kwe banaasinziira okumukwata.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.