3Noolwekyo bye mwogeredde mu kizikiza biriwulirwa mu musana, nʼebyo bye mwogedde mu kaama, nga muli mu kisenge nʼenzigi nga nzigale, bigenda kulangirirwa ku busolya bwʼennyumba.
19Era nzija kugamba emmeeme yange nti, “Emmeeme, weeterekedde bingi mu mawanika go okukuyisa mu myaka mingi egijja. Wummula, olye, onywe era weesanyuse!” ’
20“Naye Katonda nʼamugamba nti, ‘Musirusiru ggwe! Ekiro kino emmeeme yo eneekuggibwako. Kale ebyo bye weetegekedde binaaba byʼani?’
21“Bwe kityo bwe kiriba eri buli muntu eyeeterekera, so nga mwavu eri Katonda.”
22Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo temweraliikiriranga lwa bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ezʼokwambala.
42Mukama waffe nʼaddamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era owʼamagezi ye aluwa mukama we gwʼalikwasa obuvunaanyizibwa obwʼokulabirira abaweereza be nʼokugaba emmere mu kiseera ekituufu?
43Aweereddwa omukisa mukama we bwʼalikomawo gwʼalisanga ngʼatuukiriza bulungi emirimu gye.
44Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna.
45Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ nʼadda ku baweereza banne, abasajja nʼabakuba, nʼebiseera bye nʼabimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira,
46mukama we agenda kudda mu kiseera wʼatamusuubirira, amutemeeteme, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47“Omuweereza oyo eyamanya mukama we byʼayagala akole, kyokka ye nʼatabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene.
49“Najja kuleeta muliro ku nsi, era kyandibadde kirungi singa gukoledde!
50Nninayo okubatizibwa kwe ndibatizibwa, naye nzija kuba mu nnaku nnyingi nga tekunnaba kutuukirizibwa!
51Mulowooza nti Najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbategeeza nti sajja kuleeta mirembe wabula okwawukana.
52Okuva kaakano amaka gajjanga kwawukanamu, agʼabantu abataano, abasatu ku bo nga bawakanya ababiri, nʼababiri nga bawakanya abasatu.
53Kitaawe wʼomwana alyawukana ne mutabani we, nʼomwana nʼayawukana ne kitaawe, ne nnyina wʼomwana alyawukana ne muwala we nʼomuwala nʼayawukana ne nnyina, ne nnyazaala balyawukana ne muka mwana we ne muka mwana nʼayawukana ne nnyazaala we.”
54Awo Yesu nʼakyukira ekibiina nʼabagamba nti, “Bwe mulaba ebire nga byekuluumulula ebugwanjuba, amangwago mugamba nti, ‘Enkuba egenda kutonnya,’ era nʼetonnya.
55Ate empewo bwʼekunta ngʼeva ku bukiikaddyo, mugamba nti, ‘Leero akasana kajja kwaka nnyo,’ era bwe kiba.
56Bannanfuusi mmwe! Musobola bulungi okunnyonnyola obubonero obuli ku nsi ne mu bbanga, muyinza mutya obutamanya obubonero obwʼomu kiseera kino?
57“Lwaki temwesalirawo ekyo kye mulaba nga kituufu?
58Bwʼobanga ogenda nʼakuwawaabira mu mbuga zʼamateeka, gezaako okumusaba ensonga zammwe muzimalire mu kkubo nga tezinnatuuka wa mulamuzi, talwa kukutwala wa mulamuzi, nʼomulamuzi nʼakuwaayo eri omuserikale, nʼomuserikale nʼakusibira mu kkomera.
59Kubanga nkutegeeza nti Togenda kuvaayo okutuusa nga ne sente esembayo omaze okugisasula.”