4Ate bali ekkumi nʼomunaana omunaala gwa Sirowamu be gwagwako, ne gubatta, mulowooza be baali basinga obwonoonyi okusinga abantu abaabeeranga mu Yerusaalemi bonna?
6Awo Yesu nʼabagerera olugero luno nti, “Waaliwo omusajja eyasimba omutiini mu nnimiro ye. Nʼagendangayo okugulambula okulaba obanga gubazeeko ebibala, nʼasanga nga tegubazeeko kibala na kimu.
7Kyeyava alagira omusajja we amulimira ennimiro eyo nti, ‘Omuti guno gutemewo. Kubanga gino emyaka esatu nga nambula omuti guno, naye tegubalangako kibala na kimu. Gwemalira bwereere ettaka lyaffe.’
8Omulimi we nʼaddamu nti, ‘Mukama wange, tuguleke tetugutemawo. Ka tuguweeyo omwaka gumu, nzija kugutemeratemera era nguteekeko nʼebigimusa.
13Nʼamukwatako. Amangwago omukazi ne yeegolola nʼayimirira bulungi, nʼatendereza Katonda!
14Naye omukulembeze wʼekkuŋŋaaniro eryo nʼanyiiga nnyo, kubanga Yesu yawonya ku lunaku lwa Ssabbiiti. Nʼagamba ekibiina nti, “Mu wiiki mulimu ennaku mukaaga, muyinza okujjanga mu nnaku ezo ne muwonyezebwa, naye so si ku Ssabbiiti!”
15Mukama waffe nʼamuddamu nti, “Bannanfuusi mmwe! Buli omu ku mmwe tasumulula nte ye oba ndogoyi ye ku Ssabbiiti nʼagitwala okunywa amazzi?
16Naye si kituufu omukazi ono, muwala wa Ibulayimu, okusumululwa ku Ssabbiiti mu busibe bwa Setaani bwʼamazeemu emyaka ekkumi nʼomunaana?”
17Bwe yayogera bwʼatyo abaali bamuwakanya bonna ne baswala, naye ekibiina kyʼabantu bonna ne bajjula essanyu olwʼebintu ebyʼekitalo bye yakola.
18Awo Yesu kyeyava abayigiriza ngʼagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda bufaanana na ki? Mbugeraageranye na ki?
19Bufaanana na kaweke ka kaladaali omusajja ke yasiga mu nnimiro ye. Kaamera ne kavaamu omuti, nʼennyonyi ezʼomu bbanga ne zituula ku matabi gaagwo.”
20Ate era nʼagamba nti, “Obwakabaka bwa Katonda mbugeraageranye na ki?
28Era walibaawo okukuba ebiwoobe nʼokuluma obujiji bwe muliraba Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo ne bannabbi bonna nga bali mu bwakabaka bwa Katonda, naye nga mmwe musuulibbwa ebweru.
29Kubanga abantu baliva ebuvanjuba nʼebugwanjuba, ne bava ne mu bukiikakkono ne mu bukiikaddyo, ne batuula ku mmeeza mu bwakabaka bwa Katonda.
31Mu kiseera ekyo ne wabaawo abamu ku Bafalisaayo abajja eri Yesu ne bamugamba nti, “Tambula ove wano, kubanga Kerode ayagala kukutta.”
32Yesu nʼabaddamu nti, “Mugende mugambe ekibe ekyo nti laba ngoba baddayimooni, nʼokuwonya abalwadde, leero, nʼenkya, era ku lunaku olwokusatu ndimaliriza.
33Naye leero, nʼenkya, ne luli nsaana mbeere ku lugendo lwange nga ntambula, kubanga tekisoboka nnabbi okufiira ebweru wa Yerusaalemi!
34“Ggwe Yerusaalemi, Ggwe Yerusaalemi! Gwe atta bannabbi. Akuba amayinja abo ababa batumiddwa gyʼali, emirundi nga mingi nnyo gye njagadde okukuŋŋaanya abaana bo ngʼenkoko bwʼekuŋŋaanya obwana bwayo nʼebukuumira mu biwaawaatiro byayo, naye ne mutayagala kukkiriza!
35ⓛKale laba ennyumba yammwe erekeddwa awo. Era mbagamba nti temugenda kuddayo kundaba okutuusa ekiseera lwe kirituuka ne mugamba nti, ‘Aweereddwa omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama.’ ”