Lukka 14:1-35 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ngʼagenze okulya mu nnyumba eyʼomu ku bakulembeze bʼAbafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso.

2Waaliwo omusajja omulwadde wʼentumbi ngʼatudde okwolekera Yesu we yali.

3Awo Yesu nʼabuuza Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?”

4Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, nʼamuwonya, nʼamugamba yeetambulire.

5Nʼalyoka abakyukira nʼababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye nʼegwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?”

6Era ne batamuddamu.

7Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa nʼabagerera olugero ngʼagamba nti,

8“Bwe bakuyitanga ku mbaga eyʼobugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba ekyʼekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa,

9eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo wʼotudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo wʼotudde.’ Noolyoka ositukawo ngʼoswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega.

10“Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo ekyʼemabega, kale nno eyakuyise bwʼajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo ekyʼomu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa.

11Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; nʼoyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”

12Awo Yesu nʼakyukira eyamuyita nʼamugamba nti, “Bwʼotegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde abʼolulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bwʼokola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ngʼabakusasula.

13Naye bwʼofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, nʼabagongobavu, nʼabalema ne bamuzibe.

14Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kwʼAbatuukirivu.”

15Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo nʼagamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”

16Yesu nʼamuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, nʼayita abantu bangi.

17Bwe yamala okutegeka, nʼatuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’

18“Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka nʼagamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’

19“Omulala nʼagamba nti, ‘Nnakagula emigogo gyʼente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’

20“Omulala nʼagamba nti ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’

21“Omuddu nʼakomawo nʼategeeza mukama we ngʼabagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we nʼanyiiga, nʼamulagira agende mangu mu nguudo ezʼomu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu nʼabagongobavu, nʼabalema, ne bamuzibe.

22“Omuddu nʼagamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bwʼondagidde, naye era mu kisenge kyʼembaga mukyalimu ebifo.’

23“Nʼagamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ezʼomu byalo ne mu bukubo obutono okubirize bʼonoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule.

24Era mbategeeza nti Tewali nʼomu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’ ”

25Awo ebibiina byʼabantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, nʼakyuka nʼabagamba nti,

26“Omuntu bwʼanajjanga gye ndi, nʼatakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we nʼabaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.

27Era oyo ateetikka musaalaba gwe nʼangoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.

28“Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula nʼabalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, nʼalaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza?

29Kubanga singa tagumaliriza nʼakoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera,

30nga bwʼagamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye nʼalemwa okumaliriza!’

31“Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula nʼabalirira obanga nʼabaserikale omutwalo ogumu bʼalina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba nʼabaserikale emitwalo ebiri?

32Bwʼafumiitiriza nʼalaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ngʼakyaliko wala, okuteesa emirembe.

33Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna byʼalina, tayinza kuba muyigirizwa wange.

34“Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo?

35Guba tegukyalina mugaso nʼakamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.