1Awo abasolooza bʼomusolo nʼabakozi bʼebibi ne bakuŋŋaanira eri Yesu okumuwuliriza.
2Naye Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne beemulugunya nga bagamba nti Yesu akolagana nʼabantu abalina ebibi, nʼokulya nʼalya nabo.
3Yesu nʼalyoka abagerera olugero luno ngʼagamba nti,
4“Singa omu ku mmwe abadde alina endiga kikumi, naye emu nʼemubulako, taleka ziri ekyenda mu omwenda ku ttale nʼagenda anoonya eri ebuze okutuusa Lwʼagiraba?
5Bwʼagiraba, agisitula ku bibegabega bye nʼagitwala eka ngʼajaguza.
6Bwʼatuuka eka ayita mikwano gye ne baliraanwa be bajje ngʼagamba nti, ‘Munsanyukireko kubanga endiga yange eyabadde ebuze, erabise.’
7Mu ngeri yʼemu, mbagamba nti mu ggulu eribaayo essanyu lingi nnyo olwʼomwonoonyi omu eyeenenyezza okusinga ekyenda mu omwenda abatuukirivu abateetaaga kwenenya.”
8“Oba mukazi ki alina ennoso ze kkumi, emu nʼemubulako, atakoleeza ttaala nʼanoonya mu buli kasonda konna akʼennyumba, nʼayera nʼebuziizi yenna okutuusa lwʼagiraba?
9Bwʼagiraba, ayita mikwano gye ne baliraanwa be nʼabagamba nti, ‘Munsanyukireko, ennoso yange eyabadde ebuze ngirabye.’
10Mbategeeza nti Mu ngeri yʼemu omukozi wʼebibi omu bwe yeenenya, bamalayika ba Katonda bajjula essanyu.”
11Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalina batabani be babiri.
12Omuto nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nkusaba ompe omugabo gwange ku bintu byo ogunsaanidde.’ Kitaawe nʼabagabanyiza ebintu byabwe.
13“Waayitawo ennaku ntono, omwana omuto nʼasibako ebintu bye byonna ne yeetambulira, nʼagenda mu nsi eyʼewala. Bwe yatuuka eyo nʼasaasaanya ebintu bye ne yeemalira mu binyumu.
14Mu kiseera ekyo we yamalirawo ebintu bye byonna, nʼenjala nnyingi we yagwira mu nsi omwo mwe yali, nʼasiibanga era nʼasulanga enjala.
15Nʼagenda abeere ewʼomwami omu owʼomu nsi omwo nʼamusaba amuwe omulimu, nʼamusindika gye yalundiranga embizzi azirabirirenga.
16Omulenzi ne yeegombanga okulyanga ebikuta byʼembizzi, naye ne watabaawo amuwa kantu konna.
17“Naye bwe yeddamu nʼagamba nti, ‘Eka ewaffe, abasajja abapakasi aba kitange bafuna emmere nnyingi ne balya ne balemwa, naye nze ndi wano nfiira wano enjala!
18Nnaagenda eri kitange, mugambe nti, Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go,
19era sikyasaanira na kuyitibwa mwana wo. Nfunira omulimu mbeere ngʼabapakasi bo.’
20“Bwʼatyo nʼasitula nʼaddayo ewa kitaawe. Naye bwe yali ngʼakyaliko wala nʼawaka, kitaawe nʼamulengera ngʼajja, nʼamusaasira nnyo. Kitaawe ngʼajjudde amaziga nʼamusisinkana, nʼamugwa mu kifuba nʼamunywegera.
21Omwana nʼagamba kitaawe nti, ‘Kitange, nnyonoonye eri eggulu ne mu maaso go. Sikyasaanira kuyitibwa mwana wo.’
22“Naye kitaawe nʼalagira abaddu be nti, ‘Mwanguwe mangu! Muleete ekkanzu esinga obulungi mugimwambaze. Mumunaanike empeta ku ngalo ye, mumwambaze nʼengatto!
23Era mugende mutte ennyana eya ssava. Tufumbe embaga nnene tujaguze.
24Kubanga mutabani wange ono yali afudde kaakano mulamu, yali azaaye laba wuuno azaawuse.’ Embaga nʼetandika.
25“Mu kiseera ekyo omwana omukulu yali ali mu nnimiro. Awo bwe yali akomawo eka ngʼasemberedde ennyumba, nʼawulira ennyimba ezʼamazina.
26Nʼayita omu ku baweereza nʼamubuuza bwe bibadde.
27Omuweereza nʼamutegeeza nti, ‘Muganda wo akomyewo, era kitammwe amuttidde ennyana eya ssava olwokubanga muganda wo akomyewo nga mulamu bulungi.’
28“Muganda we omukulu nʼanyiiga, nʼokuyingira nʼatayingira mu nnyumba. Naye kitaawe nʼajja nʼamwegayirira ayingire,
29naye omwana nʼamuddamu nti, ‘Emyaka gino gyonna nkukoledde, era tewali mulundi na gumu Lwe wali ondagidde ne nkujeemera. Naye tompangayo wadde akabuzi akato neesanyuseeko ne mikwano gyange.
30Naye kale mutabani wo olukomyewo ngʼebintu byo bye wamuwa amaze okubimalira mu bamalaaya, nʼomuttira ennyana ensava.’
31“Kitaawe nʼamuddamu nti, ‘Laba mwana wange, tuli ffenna bulijjo, era byonna bye nnina bibyo.
32Kaakano kituufu okusanyuka nʼokujaguza. Kubanga muganda wo, yali afudde, kaakano mulamu! Yali azaaye, wuuno azaawuse!’ ”