Lukka 16:1-31 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Waaliwo omusajja omugagga ngʼalina omuwanika we amulabiririra ebintu bye. Ne wabaawo abaamuloopera nti Omuwanika oyo yali asaasaanya ebintu bye, ngʼabidiibuuda.

2Mukama we nʼamuyita nʼamubuuza nti, ‘Biki ebyo bye nkuwulirako? Kale genda otegeke lipoota yʼebintu byange nga bwe biri ogindeetere. Omulimu gukufudde.’

3“Omuwanika nʼalowooza mu mutima gwe, nga yeebuuza nti, ‘Kale kaakano nkole ntya? Mukama wange wuuno angoba ku mulimu. Sirina maanyi galima, nʼokusabiriza kunkwasa ensonyi.

4Ekinaasobozesa abantu okunsembeza mu maka gaabwe, nga bwe ngobeddwa ku mulimu, nkifunye.’

5“Nʼagenda ngʼayita buli eyalina ebbanja ku mukama we. Gwe yasookerako nʼamubuuza nti, ‘Ebbanja mukama wange lyʼakubanja lyenkana wa obunene?’ ”

6“Omusajja nʼaddamu nti, ‘Ammanja endebe zʼomuzigo kikumi mu ataano.’ Omuwanika nʼamugamba nti, ‘Kwako empapula zo kwʼobanjirwa ogende owandiike endebe amakumi ataano.’

7“Omuwanika nʼadda ku wookubiri nʼamubuuza nti, ‘Ggwe obanjibwa ki?’ “Nʼaddamu nti, ‘Ebigera byʼobuwunga bwʼeŋŋaano kikumi.’ ” “Omuwanika nʼamugamba nti, ‘Kwako empapula zo kwʼobanjirwa, owandiike endala osseeko ebigera kinaana.’

8“Mukama we nʼatenda nnyo omuwanika we atali mwesigwa olwʼobukalabakalaba bwe. Kubanga abaana bʼomulembe guno bagezigezi okusinga abaana bʼomusana abʼomu mulembe gwabwe.”

9“Era mbategeeza nti mwefunire emikwano mu bugagga obutali butuukirivu, bwe buliggwaawo balyoke babasembeze mu weema ezitaggwaawo.

10Omuntu omwesigwa mu kintu ekitono, abeera mwesigwa ne mu kinene; nʼoyo ataba mwesigwa mu kitono era ne mu kinene taba mwesigwa.

11Kale obanga temwesigibwa mu bugagga obutali butuukirivu, ani agenda okubeesiga mu bugagga obwʼamazima?

12Obanga toli mwesigwa ku byʼomulala, kale ani alikwesiga nʼakukwasa ebibyo?

13“Tewali muddu ayinza kuweereza bakulu babiri. Kubanga alikyawako omu nʼayagala omulala, oba aliwulirako omu nʼanyooma omulala. Toyinza kuweereza Katonda na mamona.”

14Awo Abafalisaayo, abaali abaluvu bʼensimbi, bwe baawulira ebigambo ebyo ne banyooma Yesu.

15Nʼabagamba nti, “Mmwe mweraga mu bantu, naye Katonda amanyi emitima gyammwe. Okwerimbalimba kwammwe kubaweesa ekitiibwa mu maaso gʼabantu, naye nga kya muzizo eri Katonda.

16“Yokaana Omubatiza bwe yali nga tannabuulira, amateeka nʼobubaka bwa bannabbi byabuulirwa. Naye okuva olwo obwakabaka bwa Katonda bubuulirwa, ne buli muntu ayitibwa abuyingiremu mu bwangu ddala.

17Naye kyangu eggulu nʼensi okuggwaawo okusinga nʼakatundu kʼennukuta emu eyʼamateeka okuggwaawo.

18“Omusajja yenna agoba mukazi we nʼawasa omulala aba ayenze; nʼoyo awasa omukazi agobeddwa, naye aba ayenze.”

19Awo Yesu nʼabagamba nti, “Waaliwo omusajja omugagga ennyo, eyayambalanga engoye ezʼeffulungu ne linena era bulijjo ngʼabeera mu masanyu era ngʼalya ebyassava.

20Waaliwo nʼomusajja omwavu erinnya lye nga ye Laazaalo nga mulwadde ngʼajjudde amabwa ku mubiri gwe, eyateekebwanga ku mulyango gwʼomusajja omugagga.

21Laazaalo ne yeegombanga okulya obukunkumuka obwagwanga wansi nga buva ku mmeeza ya nnaggagga. Nʼembwa zajjanga ne zikomberera amabwa ga Laazaalo.

22“Ekiseera kyatuuka omusajja omwavu nʼafa, bamalayika ne bamutwala mu kifuba kya Ibulayimu. Oluvannyuma nʼomugagga naye nʼafa, nʼaziikibwa.

23Naye ngʼali eyo mu magombe mu kubonaabona, nʼatunula waggulu nʼalaba Laazaalo ngʼali mu kifuba kya Ibulayimu.

24Nʼakoowoola nti, ‘Kitange Ibulayimu, nsaasira, ontumire Laazaalo oyo annyike olugalo Lwe mu mazzi, nkombeko, naye olulimi lumbabuukirira nnyo mu muliro guno ogumbonyaabonya!’

25“Naye Ibulayimu nʼamuddamu nti, ‘Mwana wange, jjukira nga mu biseera byo ngʼokyali mulamu wafuna ebirungi bye weetaaganga, naye nga Laazaalo ye afuna bibi. Kaakano Laazaalo asanyusibwa naye gwe oli mu kubonaabona.

26Ate nʼekirala, wakati waffe nammwe waliwo olukonko luwanvu nnyo olutwawula, omuntu ali eno bwʼayagala okujja eyo akoma awo ku mugo gwalwo, nʼoyo ali eyo ayagala okujja eno tasobola.’

27“Awo nnaggagga nʼayaziirana nti, ‘Ayi kitange Ibulayimu, nkwegayiridde ntumira Laazaalo oyo mu maka ga kitange,

28kubanga nninayo abooluganda bataano, abandabulire, bwe balifa baleme kujja mu kifo kino ekirimu okubonaabona okwenkanidde wano.’

29Naye Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Balina Musa ne bannabbi, kale bawulire abo.’

30“Omugagga nʼaddamu nti, ‘Nedda, kitange Ibulayimu, singa batumirwa omuntu ngʼava mu bafu, bajja kwenenya.’

31“Awo Ibulayimu nʼamugamba nti, ‘Obanga tebagondera Musa ne bannabbi, newaakubadde alizuukira okuva mu bafu talibakkirizisa.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.