5Awo abatume ne bagamba Mukama waffe nti, “Twongereko okukkiriza.”
6Mukama waffe nʼabagamba nti, “Singa okukkiriza kwammwe kuba ngʼakaweke ka kaladaali, mwandigambye omukenene guno nti, ‘Siguka ogwe mu nnyanja,’ era ne gubagondera.
7“Naye ani ku mmwe, ngʼomuddu we yaakakomawo okuva okulima oba okulunda endiga, amugamba nti, ‘Jjangu mangu otuule ku mmere?’
8Tamugamba nti, ‘Teekateeka emmere yange, weerongoose olabike bulungi, olyoke ompeereze nga ndya era nga nnywa, bwe nnaamala naawe nʼonywa era nʼolya emmere yo?’
9Mulowooza nti Mukama wʼomuweereza oyo amwebaza olwʼokugondera bye yalagirwa okukola?
14Yesu bwe yabalaba nʼabagamba nti, “Mugende mweyanjule eri bakabona.” Bwe baali nga bagenda ne bawona ne baba balongoofu.
15Omu ku bo bwe yalaba ngʼawonye nʼakomawo eri Yesu nga bwʼaleekaanira waggulu ngʼatendereza Katonda.
16Nʼagwa wansi ku bigere bya Yesu ngʼamwebaza. Omusajja oyo yali Musamaliya.
17Yesu nʼagamba nti, “Ekkumi bonna tebaawonyezebbwa? Omwenda bo baluwa?
18Tebayinzizza kudda kutendereza Katonda wabula munnaggwanga ono yekka yʼakomyewo?”
19Awo Yesu nʼamugamba nti, “Situka weetambulire, okukkiriza kwo kukuwonyezza.”
20Awo Abafalisaayo ne babuuza Yesu nti, “Obwakabaka bwa Katonda bulijja ddi?” Yesu nʼabaddamu nti, “Obwakabaka bwa Katonda tebulabika nga bujja,
21era abantu tebagenda kugamba nti, ‘Laba buubuno wano,’ oba nti, ‘Buubuli wali,’ kubanga obwakabaka bwa Katonda buli mu mmwe.”
22Oluvannyuma nʼagamba abayigirizwa be nti, “Ekiseera kijja lwe mulyegomba okulaba olumu, ku nnaku zʼOmwana wʼOmuntu, naye temulirulaba.
23Balibagamba nti lwe luno era nti lwe luli temugendanga era temubagobereranga.
24Kubanga ngʼeggulu bwe limyansiza ku ludda olumu olwʼeggulu ate ne limyansiza ku ludda olulala olwʼeggulu, bwʼatyo bwʼaliba Omwana wʼOmuntu ku lunaku lwe,
26“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa era bwe kityo bwe kiriba ne mu nnaku zʼOmwana wʼOmuntu.
27Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba,
29okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro nʼolunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
30“Bwe bityo bwe biriba ku lunaku, Omwana wʼOmuntu lwʼalirabikirako.
31Ku lunaku olwo omuntu yenna aliba waggulu ku nju, takkanga mu nju munda kuggyamu bintu bye. Nʼabo abaliba mu nnimiro tebaddangayo eka okubaako ne bye banonayo.