7Kale Katonda talisingawo nnyo kulamula abantu be, be yeerondera, abamukaabirira emisana nʼekiro ate ngʼabagumiikiriza?
8Mbagamba nti Agenda kubalamula mangu. Naye Omwana wʼOmuntu, bwʼalijja, alisanga okukkiriza ku nsi?”
9Awo Yesu nʼagerera olugero luno abo abeerowooza nga batuukirivu nga banyoomoola nʼabantu abalala, nʼagamba nti,
10“Abantu babiri baayambuka mu Yeekaalu okusaba, omu yali Mufalisaayo nʼomulala nga muwooza.
11Omufalisaayo nʼayimirira nʼatandika okusaba nga yeeyogerako nti, ‘Nkwebaza, Katonda, kubanga sifaanana ngʼabantu abalala: abʼomululu, abalyazaamaanyi, abenzi, oba omuwooza ono.
12Nsiiba emirundi ebiri mu wiiki, era mpaayo eri Katonda, ekimu ekyʼekkumi ku bintu byonna bye nfuna.’
13“Naye omuwooza nʼayimirira wala nʼatasobola na kuyimusa maaso ge kutunula eri eggulu ngʼasaba, wabula ne yeekuba mu kifuba ngʼasaba nti ‘Katonda, onsaasire, nze omwonoonyi.’
14“Mbagamba nti Omusajja ono, omuwooza ye yaddayo eka ngʼasonyiyiddwa ebibi bye. Kubanga buli eyeegulumiza alitoowazibwa, nʼoyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
15Lumu ne wabaawo abaaleetera Yesu abaana baabwe abato abakwateko abawe omukisa. Naye abayigirizwa bwe baakiraba ne bajunga abaabaleeta.
16Naye Yesu abaana nʼabayita, nʼagamba nti, “Muleke abaana abato bajje gye ndi, temubagaana, kubanga abali nga bano be bʼobwakabaka bwa Katonda.
25Kyangu eŋŋamira okuyita mu nnyindo yʼempiso okusinga omugagga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.”
26Abo abaawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Kale ani ayinza okulokolebwa?”
27Yesu nʼaddamu nti, “Ebitayinzika eri abantu, biyinzika eri Katonda.”
28Peetero nʼamugamba nti, “Ffe twalekawo ebyaffe byonna ne tukugoberera!”
29Yesu nʼaddamu nti, “Ddala ddala mbagamba nti Teri muntu nʼomu eyalekawo amaka ge, oba omukazi we, oba baganda be, oba abazadde be, oba abaana be, olwʼobwakabaka bwa Katonda,
30atalifuna mirundi mingi nʼokusingawo mu mulembe guno, ate ne mu mulembe ogugenda okujja aweebwe obulamu obutaggwaawo.”
31Awo Yesu nʼazza ku bbali ekkumi nʼababiri, nʼabagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana wʼOmuntu, bijja kutuukirizibwa.
32Ajja kuweebwayo mu mikono gyʼabannaggwanga okukudaalirwa nʼokuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu,
33balimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”
34Naye abayigirizwa be tebaategeera kyʼagamba, amakulu gaakyo gaali gabakwekeddwa, ne batategeera bye yayogera.
35Awo Yesu bwe yali ngʼasemberera Yeriko, ne wabaawo omusajja omuzibe wʼamaaso eyali atudde ku kkubo ngʼasabiriza.