Lukka 19:1-48 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼatuuka mu kibuga Yeriko, nʼayitamu.

2Mu kibuga omwo mwalimu omusajja erinnya lye Zaakayo; yali mukulu wa bawooza, era yali mugagga nnyo.

3Nʼafuba okulaba Yesu, naye nʼatasobola ngʼali mu kibiina kyʼabantu kubanga yali mumpi.

4Kyeyava adduka ne yeesooka ekibiina mu maaso, nʼalinnya omuti omusukamooli asobole okulaba Yesu ngʼayitawo.

5Yesu bwe yatuuka awo nʼatunula waggulu, nʼamuyita nti, “Zaakayo! Yanguwa okke wansi! Kubanga olwa leero ŋŋenda kuba mugenyi wo mu maka go.”

6Awo Zaakayo nʼakka mangu okuva ku muti nʼatwala Yesu mu nnyumba ye ngʼajjudde essanyu.

7Abantu bonna abaakiraba ne batandika okwemulugunya nga bagamba nti, “Agenze okukyalira omuntu alina ebibi.”

8Awo Zaakayo nʼayimirira nʼagamba Mukama waffe nti, “Mukama wange! Mpuliriza! Ebintu byange nnaabigabanyaamu wakati, ekitundu ne nkiwa abaavu; era obanga waliwo omuntu gwe nnali ndyazaamaanyizza, nnaamuliyira emirundi ena.”

9Yesu nʼamugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.

10Kubanga Omwana wʼOmuntu, yajjirira kunoonya nʼokulokola abaabula.”

11Awo nga bakyawuliriza ebyo, Yesu nʼabagerera olugero olulala. Mu kiseera ebyo yali asemberedde nnyo Yerusaalemi, era abantu ne balowooza nti Obwakabaka bwa Katonda bugenda kutandika mu kiseera ekyo.

12Nʼabagamba nti, “Waaliwo omukungu omu eyalaga mu nsi eyʼewala alye obwakabaka alyoke akomewo.

13Bwe yali asitula nʼayita abaddu be kkumi nʼabalekera mina[9] kkumi nʼabagamba nti, ‘Muzisuubuzise okutuusa lwe ndidda.’

14“Naye abantu be baali tebamwagala ne batuma ababaka baabwe mu nsi gye yalaga, nga bagamba nti, ‘Ffe tetwagala musajja ono kubeera kabaka waffe.’

15“Naye nʼafuulibwa kabaka, nʼaddayo mu kitundu kyʼewaabwe. Bwe yatuuka nʼayita abaddu be, be yali alekedde ensimbi, bamutegeeze amagoba ge baggyamu.

16“Eyasooka nʼajja nʼagamba nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina kkumi.’

17“Mukama we nʼamwebaza, nʼamugamba nti, ‘Oli muddu mulungi nnyo. Kubanga obadde mwesigwa mu kintu ekitono ennyo, nkuwadde okufuga ebibuga kkumi.’

18“Omuddu owookubiri nʼajja, nʼagamba mukama we nti, ‘Ssebo, mina gye wandekera navisaamu mina ttaano.’

19“Oyo naye nʼamugamba nti, ‘Onoofuga ebibuga bitaano.’

20“Awo omuddu omulala nʼajja, nʼagamba mukama we nti, ‘Mina gye wandekera yiino, nagitereka bulungi.

21Nakutya, kuba, nga bwʼoli omuntu omukakanyavu, otwala ebitali bibyo, nʼokungula nʼebibala byʼotaasiga.’

22“Mukama we nʼamuddamu nti, ‘Oli musajja mubi nnyo! Nzija kukusalira omusango ngʼebigambo byo byʼoyogedde bwe biri. Wamanya nga Ndi muntu mukalubo, nga ntwala ebitali byange, era nga nkungula bye saasiga,

23kale, lwaki ensimbi zange tewazissa mu banka, bwe nandikomyewo nandizisanzeeyo nga zizadde nʼamagoba?’

24“Nʼalyoka agamba abaali bayimiridde awo nti, ‘Mumuggyeeko mina eyo mugiwe oli alina ekkumi.’

25“Ne bamugamba nti, ‘Naye ssebo, oli alina mina kkumi!’

26“Nʼabaddamu nti, ‘Mbagamba nti Abo abalina, be balyeyongera okuweebwa; ate abo abatalina, nʼakatono ke balina kalibaggibwako.

27Kaakano njagala abo bonna abalabe bange, abaajeema nga tebaagala mbeere kabaka waabwe, mubandeetere wano, mubattire mu maaso gange.’ ”

28Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, nʼatambula ngʼakulembedde abayigirizwa be okwolekera Yerusaalemi.

29Bwe yali asemberera ebibuga Besufaage ne Besaniya ngʼali ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, nʼatuma abayigirizwa be babiri nʼabagamba nti,

30“Mugende mu kabuga akatuli mu maaso bwe munaaba mwakakayingira, munaalaba omwana gwʼendogoyi, oguteebagalwangako, nga gusibiddwa awo. Mugusumulule, muguleete wano.

31Singa wabaawo ababuuza nti, ‘Lwaki mugusumulula?’ Mumuddamu nti, ‘Mukama waffe agwetaaga.’ ”

32Awo abaatumibwa ne bagenda ne basanga omwana gwʼendogoyi nga Yesu bwe yabagamba.

33Era bwe baali nga bagusumulula bannannyini gwo ne bababuuza nti, “Lwaki musumulula omwana gwʼendogoyi ogwo?”

34Ne baddamu nti, “Mukama waffe agwetaaga.”

35Omwana gwʼendogoyi ne baguleeta eri Yesu, ne bagwaliirako eminagiro gyabwe, Yesu nʼagwebagala.

36Bwe yali ngʼagenda, abantu ne baaliira ebyambalo byabwe mu luguudo.

37Awo bwe yatuuka oluguudo we luserengetera olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna ekyʼabayigirizwa, ne batandika okutendereza Katonda, mu ddoboozi eryʼomwanguka olwʼebyamagero bye yali akoze nga boogera nti,

38 “Aweereddwa omukisa Kabaka ajja mu linnya lya Mukama!” “Emirembe gibe mu ggulu, nʼekitiibwa kibeere waggulu ennyo!”

39Naye abamu ku Bafalisaayo abaali mu kibiina ne bagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, lagira abayigirizwa bo basirike!”

40Yesu nʼabaddamu nti, “Mbategeeza nti Singa bo basirika, amayinja gano ganaaleekaana!”

41Awo Yesu bwe yali ngʼasemberera ekibuga Yerusaalemi, bwe yakirengera, nʼakikaabira.

42Nʼagamba nti, “Singa otegedde leero ebireeta emirembe ebyakulagirwa! Naye kaakano bikukwekeddwa, amaaso go tegayinza kubiraba.

43Ekiseera kigenda kutuuka abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo okukwetooloola ne bakuzinda,

44ne bakumerengulira ku ttaka munda mu bisenge byo ggwe nʼabaana bo. Abalabe bo tebalirekawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, kubanga omukisa Katonda gwe yakuwa ogwʼokulokolebwa wagaana okugukozesa.”

45Awo Yesu nʼayingira mu Yeekaalu nʼagobamu abaali batundiramu.

46 Nʼabagamba nti, “Kyawandiikibwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga ya kusinzizangamu,’ naye mmwe mugifudde ‘empuku yʼabanyazi.’”

47Okuva mu kiseera ekyo Yesu nʼayigirizanga mu Yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bagezaako okufuna akaagaanya we banaamuttira.

48Naye ne balemwa kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwuliriza.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.