Lukka 2:1-52 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olwatuuka mu biseera ebyo, Kayisaali Agusito nʼayisa etteeka abantu bonna beewandiisa.

2Okubala kuno kwe kwasooka okubaawo ku mulembe gwa Kuleniyo nga ye gavana wʼObusuuli[1].

3Bonna ne bagenda okwewandiisa, buli muntu mu kibuga kyʼewaabwe.

4Awo Yusufu nʼava e Nazaaleesi ekyʼe Ggaliraaya, nʼagenda mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu ekyʼe Buyudaaya, kubanga yali wa mu kika kya Dawudi,

5yeewandiise ne Maliyamu eyali olubuto, oyo gwe yali ayogereza.

6Naye bwe baali bali eyo ekiseera kya Maliyamu ekyʼokuzaala ne kituuka.

7Nʼazaala omwana we omubereberye omulenzi, nʼamubikka mu bugoye, nʼamuzazika mu lutiba ente mwe ziriira, kubanga tebaafuna kifo mu nnyumba yʼabagenyi.

8Mu kiro ekyo waaliwo abasumba abaali mu kitundu ekyo kye kimu ku ttale nga bakuuma endiga zaabwe.

9Awo malayika wa Mukama nʼabalabikira, ne waakaayakana nʼekitiibwa kya Mukama, ne batya nnyo.

10Malayika nʼabagumya nti, “Temutya, kubanga mbaleetedde amawulire amalungi agʼessanyu eringi, era nga ga bantu bonna.

11Kubanga Omulokozi, ye Kristo Mukama waffe azaaliddwa leero mu kibuga kya Dawudi.

12Ku kino kwe munaamutegeerera: Mujja kulaba omwana omuwere, ngʼabikkiddwa mu ngoye, ngʼazazikiddwa mu lutiba lwʼente.”

13Amangwago eggye lya bamalayika abʼomu ggulu ne beegatta ne malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti,

14“Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo. Nʼemirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda bʼasiima.”

15Awo bamalayika bwe baamala okuddayo mu ggulu, abasumba ne bateesa nti, “Tugende e Besirekemu tulabe kino ekibaddewo, Mukama kyʼatutegeezezza.”

16Ne bayanguwa ne bagenda, ne balaba Maliyamu ne Yusufu, nʼomwana omuwere ngʼazazikiddwa mu lutiba lwʼente.

17Awo abasumba ne bategeeza bye baalabye, nʼebya bategeezeddwa ebikwata ku mwana oyo.

18Bonna abaawulira ebigambo byʼabasumba ne beewuunya nnyo.

19Naye Maliyamu nʼakuumanga ebigambo ebyo mu mutima gwe era ngʼabirowoozaako nnyo.

20Awo abasumba ne baddayo gye balundira ebisibo byabwe, nga bagulumiza era nga batendereza Katonda, olwʼebyo byonna bye baawulira era ne bye baalaba nga bwe baali bategeezeddwa.

21Olunaku olwʼomunaana olwʼokukomolerwako bwe lwatuuka, nʼatuumibwa erinnya YESU, malayika lye yayogera nga Yesu tannaba kuba mu lubuto lwa nnyina.

22Awo ekiseera bwe kyatuuka Maliyamu okugenda mu Yeekaalu atukuzibwe, ngʼamateeka ga Musa bwe galagira ne batwala Yesu e Yerusaalemi okumuwaayo eri Mukama.

23 Kubanga mu mateeka ago, Katonda yalagira nti, “Omwana omubereberye bwʼanaabanga omulenzi, anaaweebwangayo eri Mukama.”

24 Era mu kiseera kye kimu bakadde ba Yesu ne bawaayo ssaddaaka amateeka nga bwe galagira okuwaayo amayiba abiri oba enjiibwa bbiri.

25Ku lunaku olwo, waaliwo omusajja erinnya lye Simyoni, eyabeeranga mu Yerusaalemi, nga mutuukirivu, ngʼatya Katonda, era ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, ngʼalindirira okusanyusibwa kwa Isirayiri.

26Kubanga yali abikkuliddwa Mwoyo Mutukuvu nti Tagenda kufa nga tannalaba ku Kristo, Omulokozi.

27Mwoyo Mutukuvu nʼamuluŋŋamya okujja mu Yeekaalu. Maliyamu ne Yusufu bwe baaleeta Omwana Yesu okumuwaayo eri Mukama ngʼamateeka bwe galagira, ne Simyoni naye yaliwo.

28Simyoni nʼajja nʼasitula Omwana mu mikono gye, nʼatendereza Katonda ngʼagamba nti,

29“Mukama wange, kaakano osiibule omuweereza wo mirembe, ngʼekigambo kyo bwe kigamba.

30Kubanga amaaso gange galabye Obulokozi bwo,

31bwe wateekateeka mu maaso gʼabantu bonna,

32Okuba Omusana ogwʼokwakira amawanga. Nʼokuleetera abantu bo Abayisirayiri ekitiibwa!”

33Kitaawe wʼomwana ne nnyina ne beewuunya ebigambo ebyayogerwa ku Yesu.

34Awo Simyoni nʼabasabira omukisa. Nʼalyoka nʼagamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa nʼabalala ne bayimusibwa.

35Era naawe ennaku eri ngʼekitala erikufumita omutima, nʼebirowoozo byʼomu mitima gyʼabantu birimanyibwa.”

36Waaliwo nnabbi omukazi, ayitibwa Ana, muwala wa Fanweri, owʼomu kika kya Aseri, era nga mukadde nnyo, eyafumbirwa nga muwala muto nʼamala ne bba emyaka musanvu gyokka, bba nʼafa,

37nʼasigala nga nnamwandu. Mu kiseera kino yali yaakamala emyaka kinaana mu ena, era teyavanga mu Yeekaalu ngʼasiiba nʼokwegayiriranga Katonda emisana nʼekiro.

38Awo Ana mu kiseera ekyo yali ayimiridde okumpi ne Maliyamu ne Yusufu, naye nʼatandika okutendereza Katonda ngʼamwogerako eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.

39Awo bakadde ba Yesu bwe baamala okutuukiriza byonna ngʼamateeka ga Mukama bwe galagira, ne baddayo e Nazaaleesi ekyʼomu Ggaliraaya.

40Omwana nʼakula, nʼaba wʼamaanyi, nʼajjuzibwa amagezi nʼekisa kya Katonda kyali ku ye.

41Bakadde ba Yesu buli mwaka bagendanga mu Yerusaalemi ku Mbaga yʼOkuyitako.

42Awo Yesu bwe yaweza emyaka kkumi nʼebiri egyʼobukulu nʼayambuka e Yerusaalemi ne bakadde be ku mbaga, nga empisa yaabwe bwe yali.

43Awo embaga ngʼewedde, ne bakyusa okuddayo ewaabwe, naye omulenzi Yesu nʼasigala mu Yerusaalemi, naye bazadde be ne batakimanya.

44Kubanga baalowooza nti Ali ne bannaabwe mu kibiina ekirala, ekiro ekyo bwe bataamulaba, ne bamunoonya mu kibiina omwali baganda baabwe ne mikwano gyabwe.

45Bwe bataamulaba kwe kuddayo e Yerusaalemi nga bamunoonya.

46Awo nga baakamunoonyeza ennaku ssatu, ne bamusanga ngʼatudde mu Yeekaalu nʼabannyonnyozi bʼamateeka ngʼabawuliriza awamu nʼokubabuuza ebibuuzo.

47Bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olwʼamagezi ge nʼokuddamu kwe.

48Awo bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, nnyina nʼamugamba nti, “Mwana waffe otukoze ki kino? Kitaawo nange tweraliikiridde nnyo nga tukunoonya!”

49Yesu nʼabaddamu nti, “Mubadde munnoonyeza ki? Temwategedde nga kiŋŋwanidde okukola ebintu bya Kitange?”

50Naye ne batategeera bigambo ebyo bye yabagamba.

51Nʼasituka nʼagenda nabo e Nazaaleesi, nʼabagonderanga; kyokka nnyina ebigambo ebyo byonna nʼabikuuma mu mutima gwe,

52Awo Yesu nʼakula mu mubiri, mu magezi, era nʼalaba ekisa mu maaso ga Katonda ne mu maaso gʼabantu.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>