10Awo ekiseera ekyʼamakungula bwe kyatuuka, nʼatuma omu ku baddu be eri abalimi bamuwe ku bibala ebyʼemizabbibu gye. Naye abalimi abapangisa ne bamukuba ne bamugoba nʼaddayo ngalo nsa eri mukama we.
11Nʼabatumira omuddu we omulala, nʼoyo ne bamukuba ne bamuswaza nnyo, nʼaddayo ngalo nsa.
12Nʼabatumira omuddu owookusatu, naye ne bamukuba ne bamussaako nʼebiwundu ne bamugoba mu nnimiro.
13“Nannyini nnimiro ne yeebuuza nti, ‘Nkole ntya? Ka mbatumire omwana wange gwe njagala ennyo, oboolyawo banaamussaamu ekitiibwa.’
14“Omwana oyo bwe baamulengera ne bateesa nti, ‘Ono yʼagenda okusikira ennimiro eno nga kitaawe afudde. Ka tumutte, eriba yaffe.’
15Ne bamuggya mu nnimiro nga bamukulula ne bamutta.
17ⓠ Yesu nʼabatunuulira nʼabagamba nti, “Kale ekyawandiikibwa kino kitegeeza ki? Ekigamba nti,‘Ejjinja abazimbi lye baagaana,lye lyafuulibwa ekkulu eryʼoku nsonda.’
18Omuntu yenna agwa ku jjinja eryo alimenyekamenyeka, gwe ligwira alibetentebwa.”
19Awo abannyonnyozi bʼamateeka ne bakabona abakulu bwe baawulira ebigambo ebyo, ne baagala bamukwatirewo mangwago, kubanga baamanya ngʼolugero lwali lukwata ku bo. Naye ne batya abantu.
20Ne balinda okutuusa lwe banaafuna akaagaanya babeeko kye bakola. Ne batuma abakessi eri Yesu nga beefudde ngʼabantu abalungi abaagala okumanya. Baasuubira nti Mu ebyo byʼanaddamu, nga bamubuuzizza ebibuuzo ebirimu emitego, munaabaamu kwe banaasinziira okumukwata ne bamuwaayo ewa gavana.
21Abakessi ne babuuza Yesu nti, “Omuyigiriza, tumanyi nga Byʼoyogera nʼebyo byʼoyigiriza bya mazima, era nga tofaayo ku bigambo ebyʼabantu obuntu wabula oyigiriza ebyo Katonda byʼayagala.
22Kyetuva tukubuuza nti Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”
26Ne balemwa okumukwasa mu ebyo bye yaddamu ngʼabantu bonna bali awo. Bye yaddamu ne bibeewuunyisa nnyo, ne basirika busirisi.
27Awo abamu ku Basaddukaayo abatakkiririza mu kuzuukira, ne bajja eri Yesu, ne bamubuuza nti,
28“Omuyigiriza, amateeka ga Musa gagamba nti Singa omusajja omufumbo afa nga tazadde baana, muganda we awasenga nnamwandu alyoke afunire muganda we omufu ezzadde.
34Yesu nʼaddamu nti, “Obufumbo buli kuno ku nsi, abantu kwe bawasiza era ne bafumbirwa.
35Naye abo abasaanyizibwa okuzuukira mu bafu bwe batuuka mu ggulu tebawasa wadde okufumbirwa,
36era tebaddayo kufa nate, kubanga baba nga bamalayika. Era baba baana ba Katonda kubanga baba bazuukizibbwa mu bulamu obuggya,
37ⓡNaye nti Abafu bazuukizibwa, ne Musa yannyonnyola bye yalaba ku kisaka, bwe yayita Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo.
38Kino kitegeeza nti Si Katonda wa bafu wabula Katonda wa balamu, kubanga bonna balamu gyʼali.”
39Abamu ku bannyonnyozi bʼamateeka ne bagamba nti, “Omuyigiriza, ozzeemu bulungi!”
40Ne watabaawo ayaŋŋanga kwongera kumubuuza bibuuzo. Kristo Mwana wʼani?
41Awo Yesu nʼababuuza nti, “Lwaki Kristo ayitibwa Omwana wa Dawudi?
42Songa Dawudi amwogerako mu Zabbuli nti,
42‘Katonda yagamba Mukama wange nti,Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo
45Awo abantu bonna nga bawulira, Yesu nʼakyukira abayigirizwa be nʼabagamba nti,
46“Mwekuume abannyonnyozi bʼamateeka. Baagala nnyo okutambula nga bambadde amaganduula agagenda gakweya, nʼabantu okugenda nga babalamusa mu nguudo ne mu butale, era baagala nnyo okutuula mu bifo ebyʼekitiibwa mu makuŋŋaaniro ne ku mbaga!
47Balimbalimba nga basaba essaala empanvu, ngʼeno bwe basala enkwe okunyaga amayumba ga bannamwandu. Noolwekyo bagenda kufuna ekibonerezo ekisingira ddala obunene.”