Lukka 21:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu bwe yayimusa amaaso nʼalaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu.

2Nʼalaba nnamwandu omwavu ngʼawaayo busente bubiri.

3Nʼagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti Nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna.

4Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku nsimbi ze bateetaaga, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna kyʼalina.”

5Ne wabaawo aboogera ku bulungi bwʼamayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu.

6Naye Yesu nʼagamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”

7Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti Biri kumpi okubaawo?”

8Yesu nʼaddamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.

9Naye bwe muwuliranga entalo nʼobwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”

10Nʼayongera nʼabagamba nti, “Amawanga galirwanagana, nʼobwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo.

11Wagenda kubeerawo musisi owʼamaanyi ennyo, nʼenjala ennyingi mu bitundu ebyʼenjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo nʼebyentiisa ate nʼobubonero okuva mu ggulu.

12“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lwʼerinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.

13Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange.

14Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo ebyʼokuwoza,

15Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo nʼamagezi ebiriremesa nʼabalabe bammwe okubaako nʼekyʼokuddamu!

16Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe.

17Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.

18Naye nʼoluviiri olumu bwe luti olwʼoku mitwe gyammwe terulizikirira.

19Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”

20“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetoolooddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kwʼekibuga ekyo kutuuse.

21Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, nʼabo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga.

22Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, nʼebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa.

23Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto nʼabayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, nʼabantu baalyo balisunguwalirwa.

24Abamu balittibwa nʼekitala kyʼomulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala agʼoku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe ekyʼobuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda kyʼaliba ateesezza.”

25“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olwʼabʼamawanga, ngʼabantu basamaaliridde olwʼennyanja eziyira nʼamayengo ageesiikuula.

26Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olwʼebirijja ku nsi; kubanga amaanyi gʼeggulu galinyeenyezebwa.

27Mu kiseera ekyo muliraba Omwana wʼOmuntu ngʼajjira mu kire nʼobuyinza nʼekitiibwa kingi.

28Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”

29Awo Yesu nʼabagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini nʼemiti emirala gyonna.

30Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya nga Ekyeya kiri kumpi.

31Mu ngeri yʼemu bwe mulabanga ebyo nga bibaawo, nga mutegeera nti Obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.

32“Ddala ddala mbagamba nti Ebyo byonna birimala kubaawo nʼomulembe guno ne gulyoke guggwaawo.

33Eggulu nʼensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.

34“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu nʼokutamiira, nʼokweraliikirira ebyʼobulamu, okujja kwange okwʼamangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ngʼabagudde mu mutego.

35Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna.

36Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana wʼOmuntu bwʼalijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”

37Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga nʼava mu kibuga nʼasula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.

38Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.