1Embaga eyʼEmigaati Egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali esembedde.
2Bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka baali bakola kaweefube okusala amagezi okutta Yesu, naye nga batya abantu okusasamala.
3Awo Setaani nʼayingira mu Yuda Isukalyoti eyali omu ku bayigirizwa ekkumi nʼababiri,
4nʼagenda eri bakabona abakulu nʼabakuumi ba Yeekaalu abakulu, nʼateesa nabo nga bwʼanaamuwaayo gye bali.
5Ne basanyuka nnyo, era ne bakkiriza okumusasula.
6Yuda nʼakkiriza okuwaayo Yesu, nʼanoonya ebbanga mwʼanaamuweerayo gye bali nga tewali kibiina.
7Awo olunaku olwʼEmigaati Egitazimbulukuswa, okuttirwa omwana gwʼendiga ogwʼembaga yʼOkuyitako, ne lutuuka.
8Yesu nʼatuma Peetero ne Yokaana nʼabagamba nti,
9Ne bamubuuza nti, “Oyagala tukitegekere wa?”
10Yesu nʼabaddamu nti,
11
12
13Ne balaga mu kibuga, ne basanga buli kimu nga Yesu bwe yabagamba. Ne bategeka Okuyitako.
14Awo ekiseera kyʼokulya bwe kyatuuka, Yesu nʼatuula nʼabayigirizwa be okulya.
15Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti,
16
17Awo Yesu nʼaddira ekikompe kya wayini, bwe yamala okwebaza Katonda, nʼagamba nti,
18
19Ate nʼatoola omugaati, bwe yamala okwebaza Katonda, nʼagumenyaamenyamu, nʼabagabira ngʼagamba nti,
20Bwe baamala okulya ekyekiro, nʼaddira nate ekikompe era mu ngeri yʼemu nʼakibakwasa ngʼagamba nti,
21
22
23Awo abayigirizwa ne batandika okwebuuzaganya bokka na bokka nti Ani ku bo ayinza okukola ekintu ngʼekyo!
24Era ne batandika okuwakana bokka ne bokka, ani asinga ekitiibwa mu bo?
25Naye Yesu nʼabagamba nti,
26
27
28
29
30
31
32
33Awo Peetero nʼaddamu nti, “Mukama wange, neeteeseteese okusibirwa awamu naawe mu kkomera, era nʼokufiira awamu naawe.”
34Yesu nʼamuddamu nti,
35Awo Yesu nʼababuuza nti,
36Yesu nʼabagamba nti,
37
38Abayigirizwa ne bamugamba nti, “Mukama waffe, wano tulinawo ebitala bibiri!” Nʼabaddamu nti,
39Awo Yesu nʼafuluma mu kibuga awamu nʼabayigirizwa be nʼakwata ekkubo erigenda ku lusozi olwa Zeyituuni nga bwe yali empisa ye.
40Bwe yatuuka eyo nʼagamba abayigirizwa be nti,
41Ye nʼabavaako akabanga ngʼawakasukwa ejjinja, nʼafukamira nʼasaba nti,
42
43Awo malayika eyava mu ggulu nʼajja nʼamugumya.
44Yali mu kunyolwa kunene nnyo okwʼomwoyo, ne yeeyongera okusaba ennyo nʼatuuyana nʼentuuyo ezamuvaamu ne ziba ngʼamatondo gʼomusaayi, era ne gatonnya wansi.
45Bwe yayimuka ngʼamaze okusaba nʼaddayo eri abayigirizwa be, naye nʼabasanga nga beebase, olwʼennaku eyali ebakutte.
46Nʼabagamba nti,
47Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera, ekibiina kyʼabantu ne batuuka nga Yuda, omu ku bayigirizwa be ekkumi nʼababiri, yʼabakulembedde. Yuda nʼajja butereevu awali Yesu, nʼamunywegera.
48Naye Yesu nʼamugamba nti,
49Abayigirizwa abalala bwe baalaba ekyali kigenda okubaawo ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tubateme nʼebitala byaffe?”
50Era omu ku bo nʼatemako nʼekitala okutu kwʼomuweereza wa Kabona Asinga Obukulu.
51Naye Yesu nʼabagamba nti,
52Yesu kwe kukyukira bakabona abakulu, nʼabakulu bʼabakuumi ba Yeekaalu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya abaali bakulembedde ekibiina kyʼabantu, nʼabagamba nti,
53
54Awo ne bakwata Yesu ne bamutwala mu nnyumba ya Kabona Asinga Obukulu. Peetero nʼagoberera nga yeesuddeko akabanga.
55Bwe baamala okukuma omuliro wakati mu luggya ne batuula okwota; Peetero naye nʼatuula wakati mu bo, nʼayota omuliro.
56Omuwala omuweereza nʼamulengera ngʼomuliro gumumulisizza, nʼamutunuulira enkaliriza, okutuusa lwe yagamba nti, “Omusajja ono yali ne Yesu!”
57Peetero ne yeegaana nti, “Omukazi, oyo gwʼoyogerako nze simumanyi.”
58Bwe waayitawo akabanga omuntu omulala nʼalaba Peetero nʼamugamba nti, “Naawe oli omu ku bo.” Peetero ne yeegaana nti, “Nedda, ssebo, si bwe kiri.”
59Bwe waali wayiseewo ngʼessaawa nnamba, omuntu omu nʼayogera ngʼakakasa nti, “Ddala nʼono yali wamu ne Yesu kubanga naye Mugaliraaya.”
60Peetero nʼaddamu nti, “Omusajja, byʼoyogerako sibimanyi!” Peetero bwe yali akyayogera enkoko nʼekookolima.
61Mu kaseera ako Mukama waffe nʼakyuka nʼatunuulira Peetero. Peetero nʼajjukira Yesu kye yagamba nti,
62Awo Peetero nʼafuluma okuva mu luggya nʼakaaba nnyo amaziga!
63Awo abasajja abaali bakuuma Yesu ne batandika okumuduulira nʼokumukuba.
64Ne bamusiba ekitambaala ku maaso ne bamukuba ebikonde, oluvannyuma ne bamubuuza nti, “Nnabbi! yogera ani akukubye?”
65Ne bamuvuma nʼebigambo ebirala bingi.
66Enkeera mu makya Olukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya, nga lulimu bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, ne lutuula. Yesu nʼaleetebwa mu maaso gʼOlukiiko olwo.
67Ne bamubuuza nti, “Obanga ggwe Kristo, tubuulire.”
68
69
70Bonna ne baleekaana nti, “Kwe kugamba nti Ggwe Mwana wa Katonda?”
71Ne bagamba nti, “Ate twetaagira ki obujulizi obulala? Kubanga ffe ffennyini twewuliridde ngʼebigambo bino biva mu kamwa ke.”