Lukka 23:1-56 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato.

2Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ngʼatuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.”

3Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka wʼAbayudaaya?” Yesu nʼamuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”

4Awo Piraato nʼakyukira bakabona abakulu nʼekibiina kyʼabantu nʼabagamba nti, “Siraba musango muntu ono gwʼazizza.”

5Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu nʼokuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”

6Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?”

7Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, nʼamuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.

8Awo Kerode bwe yalaba Yesu, nʼasanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ngʼayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ngʼajja kumulaba ngʼakolayo ekyamagero.

9Nʼamubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu nʼatamuddamu.

10Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza.

11Kerode nʼabaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, nʼokumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato.

12Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.

13Awo Piraato nʼakuŋŋaanya bakabona abakulu, nʼabakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabantu,

14nʼabagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti Asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde.

15Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina kyʼakoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa.

16Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”

17Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ngʼateekwa okubateera omusibe omu,

18Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.”

19Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era nʼolwʼobutemu.

20Piraato olwʼokwagala okusumulula Yesu, nʼayongera okwogera nabo.

21Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”

22Piraato nʼayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.”

23Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, nʼokuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.

24Awo Piraato nʼakola nga bwe baayagala.

25Nʼasumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olwʼokusasamaza abantu nʼolwʼobutemu. Naye nʼabakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.

26Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; nʼagusitula nʼagutwala ngʼatambulira emabega wa Yesu.

27Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli nʼabakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.

28Naye Yesu nʼabakyukira nʼabagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire nʼabaana bammwe.

29Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa abʼomukisa ddala.

30 Baligamba ensozi nti,

30‘Mutugweko,’ nʼobusozi nti, ‘Mutuziike.’

31Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”

32Waaliwo nʼabasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa.

33Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu nʼabamenyi bʼamateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo nʼomulala ku ludda olwa kkono.

34Yesu nʼagamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.

35Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze bʼAbayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”

36Nʼabaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu,

37nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka wʼAbayudaaya, weerokole!”

38Waggulu wʼomutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, “ONO YE KABAKA WʼABAYUDAAYA.”

39Omu ku bamenyi bʼamateeka abaakomererwa naye nʼavuma Yesu ngʼagamba nti, “Si ggwe Kristo? Kale weerokole era naffe otulokole.”

40Naye munne bwe baakomererwa nʼamunenya, nʼamugamba nti, “Nʼokutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa?

41Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna kyʼakoze.”

42Nʼalyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bwʼolijja mu bwakabaka bwo.”

43Yesu nʼamuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti Olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”

44Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ezʼomu ttuntu, enzikiza nʼekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa eyʼomwenda,

45kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi lyʼomu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri.

46Awo Yesu nʼayogerera waggulu nʼeddoboozi eryʼomwanguka ngʼagamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, nʼafa.

47Omuserikale Omuruumi omukulu wʼekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, nʼatendereza Katonda ngʼagamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”

48Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi.

49Mikwano gya Yesu, awamu nʼabakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.

50Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ngʼatuula mu Lukiiko Olukulu olwʼAbayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu,

51Teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya ekyʼomu Buyudaaya. Yali ngʼalindirira nʼessuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda.

52Omusajja ono nʼagenda eri Piraato nʼasabayo omulambo gwa Yesu.

53Bwe yaguggya ku musaalaba, nʼaguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, nʼagugalamiza mu ntaana eyʼempuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu.

54Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olwʼokweteekerateekerako ngʼenkeera ye Ssabbiiti.

55Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana nʼomulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu.

56Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa nʼamafuta agʼokusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ngʼetteeka bwe liragira.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.