1Awo ku lunaku Lwassande
2Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali.
3Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu.
4Ne bayimirira awo nga babuliddwa ekyʼokukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe ngʼabambadde engoye ezimasamasa.
5Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana?
6Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti,
7
8Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.
9Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi nʼomu nʼabalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo:
10Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, nʼabalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo.
11Naye bye baababuulira nga biwulikika ngʼebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza.
12Kyokka Peetero nʼadduka nʼalaga ku ntaana, nʼakutama nʼalingiza nʼalaba ngʼengoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, nʼaddayo eka nga yeewuunya.
13Ku lunaku olwo lwennyini abasajja babiri, abamu ku abo abaagobereranga Yesu, baali batambula nga bagenda mu kabuga akayitibwa Emawu, akaali kilomita nga kkumi na bbiri okuva e Yerusaalemi.
14Baali bagenda boogera ku kufa kwa Yesu.
15Amangwago Yesu yennyini nʼabeegattako nʼatambula nabo.
16Kyokka tebaamutegeera, kubanga ekyo Katonda yali akibakisizza.
17Yesu nʼabagamba nti,
18Omu ku bo, erinnya lye Kulyoppa nʼamuddamu nti, “Oli mugenyi mu Yerusaalemi atamanyi bya kitalo ebyaliwo mu wiiki eyise?”
19Yesu nʼababuuza nti,
20Naye bakabona abakulu nʼabakulembeze baffe baamukwata ne bamuwaayo nʼasalirwa omusango ogwʼokufa, ne bamukomerera ku musaalaba.
21Twali tusuubira nti, Ye Kristo anaalokola Isirayiri.
22Ebyo nga bikyali awo, nga wayiseewo ennaku ssatu bukyanga bino bibaawo abamu ku bakazi bʼewaffe baatwewuunyisizza. Olwa leero baakedde ku ntaana,
23naye omulambo gwe tebaagusanzeemu. Bwe baakomyewo baatugambye nti bayolesebbwa ba bamalayika abaabagambye nti Mulamu!
24Abamu ku bannaffe abasajja nabo ne bagendayo mangu, nabo ne basanga ngʼomulambo gwa Yesu teguliimu mu ntaana, ngʼabakazi bwe baagambye.”
25Yesu nʼabagamba nti,
26
27Nʼatandikira ku Musa nʼayitaayita mu bannabbi bonna ngʼagenda abannyonnyola Ebyawandiikibwa bye bimwogerako.
28Bwe baasemberera akabuga we baali bagenda, Yesu nʼaba nga eyeeyongerayo,
29naye ne bamuwaliriza asule ewaabwe kubanga nʼobudde bwali buwungedde. Nʼakkiriza, asigale.
30Awo bwe yali ngʼalya nabo nʼaddira omugaati, ne yeebaza nʼagumenyamu, nʼabawa.
31Amangwago amaaso gaabwe ne gazibuka ne bamutegeera! Ate nʼababulako mu kaseera ako!
32Ne batandika okwewuunaganya nga bagamba nti, “Emitima gyaffe tegyabuguumiridde bwe yabadde ayogera naffe mu kkubo ngʼatunnyonnyola Ebyawandiikibwa?”
33Awo ne basituka mangu ne baddayo mu Yerusaalemi, ne basanga abayigirizwa ekkumi nʼomu ne bannaabwe abalala nga bakuŋŋaanye,
34nga bagamba nti, “Ddala Mukama waffe azuukidde! Alabikidde Peetero!”
35Ne bannyonnyola, nga Yesu bwe yabalabikira nga bali mu kkubo batambula, era nga bwe yategeerekeka gye bali ngʼamaze okumenya omugaati.
36Awo bwe baali bakyayogera ebyo Yesu nʼayimirira mu makkati gaabwe nʼabalamusa nti,
37Naye bonna ne bakankana nga batidde nnyo, nga balowooza nti Balaba muzimu!
38Yesu nʼababuuza nti,
39
40Bwe yali ngʼayogera nʼabalaga ebibatu bye nʼebigere bye.
41Naye nga bakyabuusabuusa kyokka nga balina essanyu era nga basamaaliridde nʼalyoka ababuuza nti,
42Ne bamuwa ekitundu kyʼekyennyanja ekyokye,
43nʼakitoola nʼakiriira mu maaso gaabwe nga bamutunuulira!
44Nʼabagamba nti,
45Nʼalyoka asumulula emitima gyabwe, ne bategeera ebyawandiikibwa.
46Nʼabagamba nti,
47
48
49
50Awo Yesu nʼabakulembera ne balaga e Besaniya. Nʼayimusa emikono gye waggulu, nʼabawa omukisa.
51Bwe yali ngʼakyabawa omukisa, nʼabavaako, nʼasitulibwa, nʼatwalibwa mu ggulu.
52Ne bamusinza, ne baddayo mu Yerusaalemi nga bajjudde essanyu lingi.
53Ne babeeranga mu Yeekaalu bulijjo nga batendereza Katonda.