Lukka 3:1-38 LGCB2014 - Bible AI

1Awo mu mwaka ogwʼekkumi nʼettaano ogwʼokufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga yʼafuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga yʼafuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga yʼafuga Abireene,

2Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ngʼali mu ddungu, nʼafuna obubaka obuva eri Katonda.

3Yokaana nʼatambulanga ngʼagenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ngʼategeeza abantu obubaka obwʼokubatizibwa obwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi,

4nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ekyʼebigambo bya nnabbi Isaaya nti,

4“Eddoboozi lyʼoyo ayogerera mu ddungu nti, Mulongoose ekkubo lya Mukama, Muluŋŋamye amakubo ge;

5Buli kiwonvu kirijjuzibwa, na buli lusozi nʼakasozi birisendebwa, na buli ekyakyama kirigololwa, nʼobukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ezʼomuseetwe.

6 Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”

7Kyeyava agamba abantu abajjanga gyʼali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana bʼemisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?

8Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu.

9Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo kyʼemiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”

10Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”

11Yokaana nʼabaddamu ngʼagamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, nʼoyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”

12Awo abasolooza bʼomusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”

13Yokaana nʼabaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”

14Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?” Yokaana nʼabagamba nti, “Temuggyangako bantu nsimbi zaabwe. So temubawaayirizanga, nʼempeera ebaweebwa ebamalenga.”

15Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo.

16Yokaana nʼaddamu bonna ngʼagamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, nʼokusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza nʼomuliro ne Mwoyo Mutukuvu;

17nʼolugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye nʼokukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya nʼomuliro ogutazikira.”

18Yokaana nʼabuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bwʼababuulira Enjiri.

19Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olwʼokutwala Kerodiya eyali muka muganda we, nʼolwʼebibi ebirala Kerode bye yali akoze,

20ate ku ebyo byonna Kerode nʼayongerako na kino: nʼakwata Yokaana nʼamuggalira mu kkomera.

21Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu nʼabatizibwa. Yesu nʼasaba, eggulu ne libikkuka,

22Mwoyo Mutukuvu nʼamukkako mu kifaananyi ekyʼejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

23Yesu yali awezezza emyaka ngʼamakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Eri,

24Eri nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi, ne Leevi nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Yanayi, ne Yanayi nga mwana wa Yusufu,

25ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi, ne Amosi nga mwana wa Nakkumu, ne Nakkumu nga mwana wa Esuli, ne Esuli nga mwana wa Naggayi,

26ne Naggayi nga mwana wa Maasi, ne Maasi nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Semeyini, ne Semeyini nga mwana wa Yoseki, ne Yoseki nga mwana wa Yoda,

27ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa, ne Lesa nga mwana wa Zerubbaberi, ne Zerubbaberi nga mwana wa Seyalutyeri, ne Seyalutyeri nga mwana wa Neeri,

28ne Neeri nga mwana wa Mereki, ne Mereki nga mwana wa Addi, ne Addi nga mwana wa Kosamu, ne Kosamu nga mwana wa Erumadamu, ne Erumadamu nga mwana wa Eri,

29ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza, ne Eryeza nga mwana wa Yolimu, ne Yolimu nga mwana wa Mattati, ne Mattati nga mwana wa Leevi,

30ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda, ne Yuda nga mwana wa Yusufu, ne Yusufu nga mwana wa Yonamu, ne Yonamu nga mwana wa Eriyakimu,

31ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna, ne Menna nga mwana wa Mattasa, ne Mattasa nga mwana wa Nasani, ne Nasani nga mwana wa Dawudi,

32ne Dawudi nga mwana wa Yese, ne Yese nga mwana wa Obedi, ne Obedi nga mwana wa Bowaazi, ne Bowaazi nga mwana wa Salumooni, ne Salumooni nga mwana wa Nakusoni,

33ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni, ne Aluni nga mwana wa Kezilooni, ne Kezulooni nga mwana wa Pereezi, ne Pereezi nga mwana wa Yuda,

34ne Yuda nga mwana wa Yakobo, ne Yakobo nga mwana wa Isaaka, ne Isaaka nga mwana wa lbulayimu, ne Ibulayimu nga mwana wa Teera, ne Teera nga mwana wa Nakoli,

35ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu, ne Lewu nga mwana wa Peregi, ne Peregi nga mwana wa Eberi, ne Eberi nga mwana wa Seera,

36ne Sera nga mwana wa Kayinaani, ne Kayinaani nga mwana wa Alupakusaadi, ne Alupakusaadi nga mwana wa Seemu, ne Seemu nga mwana wa Nuuwa, ne Nuuwa nga mwana wa Lameka,

37ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki, ne Enoki nga mwana wa Yaledi, ne Yaledi nga mwana wa Makalaleri, ne Makalaleri nga mwana wa Kayinaani,

38ne Kayinaani nga mwana wa Enosi, ne Enosi nga mwana wa Seezi, ne Seezi nga mwana wa Adamu, ne Adamu nga mwana wa Katonda.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>