1Awo Yesu, ngʼajjudde Mwoyo Mutukuvu, nʼavaayo ku mugga Yoludaani, Omwoyo nʼamutwala mu ddungu,
2nʼakemebwa Setaani okumala ennaku amakumi ana. Ebbanga eryo lyonna yalimala nga talidde ku mmere, bwe lyaggwaako enjala nʼemuluma.
3Setaani nʼagamba Yesu nti, “Obanga oli, Mwana wa Katonda, gamba ejjinja lino lifuuke emmere.”
4Naye Yesu nʼamuddamu nti,
5Awo Setaani nʼamulinnyisa waggulu, mu kaseera katono nʼamulaga obwakabaka bwonna obwʼomu nsi.
6Setaani nʼamugamba nti, “Nzija kukuwa obuyinza ku obwo bwonna nʼekitiibwa kyabwo, kubanga bwonna bwa mpeebwa era nnyinza okubuwa omuntu yenna gwe njagala.
7Bwʼonoofukamira nʼonsinza byonna ebyo bijja kuba bibyo.”
8
9Ate Setaani nʼamutwala mu Yerusaalemi, nʼamulinnyisa waggulu ku kasolya ka Yeekaalu awasingira ddala obutumbiivu, nʼamugamba nti, “Obanga oli Mwana wa Katonda, buuka weesuule wansi.
10Kubanga kyawandiikibwa nti,
11
12
13Awo Setaani bwe yamaliriza okukema Yesu mu buli ngeri yonna, nʼamuviira okutuusa ekiseera ekirala.
14Awo Yesu nʼakomawo mu Ggaliraaya ngʼajjudde amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu, nʼayogerwako mu bitundu byonna ebyetoolodde mu byalo.
15Nʼayigirizanga mu makuŋŋaaniro gaabwe, era bonna ne bamutendereza.
16Bwe yatuuka e Nazaaleesi, ekibuga mwe yakulira, nʼagenda mu kkuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nga bwe yali empisa ye. Nʼayimuka okusoma.
17Ne bamuwa ekitabo kya nnabbi Isaaya, nʼabikkula omuzingo gwʼempapula nʼalaba awagamba nti,
18
19
20Nʼazingako omuzingo nʼaguddiza omuweereza, nʼatuula. Abantu bonna mu kkuŋŋaaniro ne bamusimba amaaso.
21Nʼatandika okubategeeza nti,
22Bonna abaaliwo ne bamutenda nga beewuunya ebigambo bye ebyekisa ebyava mu kamwa ke, nga bwe beebuuza nti, “Ono si ye mutabani wa Yusufu?”
23Yesu nʼabagamba nti,
24Naye nʼabagamba nti,
25
26
27
28Bonna abaali mu kuŋŋaaniro ne bakwatibwa obusungu olwʼebigambo ebyo,
29ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru wʼekibuga ku bbangabanga lyʼolusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi.
30Naye nʼabayitamu wakati ne yeetambulira.
31Awo Yesu nʼalaga e Kaperunawumu, ekibuga ekyʼe Ggaliraaya nʼabayigirizanga ku nnaku eza Ssabbiiti.
32Ne beewuunya nnyo okuyigiriza kwe. Kubanga yayogeranga nga nnannyini buyinza.
33Mu kkuŋŋaaniro, mwalimu omusajja eyaliko dayimooni nʼatandika okuwowoggana nti,
34“Woowe! Otulanga ki, ggwe Yesu owʼe Nazaaleesi? Ozze kutuzikiriza? Nze nkumanyi, ggwe mutukuvu wa Katonda.”
35Yesu nʼamuboggolera ngʼagamba nti,
36Buli muntu nʼatya nnyo nga bwe beebuuzaganya nti, “Kigambo ki kino? Kubanga alagira nʼobuyinza nʼamaanyi emyoyo emibi ne giva mu muntu, ekireetera ne dayimooni okumugondera.”
37Amawulire agakwata ku Yesu ne gabuna mu kitundu ekyo kyonna ekyetoolodde awo.
38Awo Yesu bwe yava mu kkuŋŋaaniro, nʼalaga mu maka ga Simooni. Yasanga nnyina mukazi wa Simooni omusujja gumuluma nnyo, abantu ne bamwegayiririra ku lulwe.
39Yesu nʼayimirira okumpi nʼomulwadde we yali, nʼalagira omusujja gumuwoneko, amangwago omulwadde nʼawona, nʼasituka nʼabaweereza!
40Obudde bwe bwali buwungeera, abantu bonna abaalina abalwadde abʼendwadde eza buli ngeri, ne babaleeta eri Yesu, nʼabassaako emikono buli omu nʼamuwonya.
41Abamu baaliko baddayimooni, Yesu nʼabalagira ne bava ku balwadde nga bwe baleekaana nti, “Ggwe Mwana wa Katonda.” Naye kubanga baamumanya nga ye Kristo, nʼatabaganya kukyogerako.
42Bwe bwakya Yesu nʼalaga mu kifo etali bantu. Ekibiina kyʼabantu ne bamunoonya, okutuusa lwe baamulaba ne balaga gyʼali ne bamwegayirira aleme kubavaako.
43Naye nʼabaddamu nti,
44Yesu ne yeeyongera okubuulira mu makuŋŋaaniro gaabwe mu Buyudaaya.