Lukka 5:1-39 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu yali ayimiridde ku lubalama lwʼennyanja yʼe Genesaleeti[3] ngʼayigiriza, ebibiina nga bamunyigiriza nga bawuliriza ekigambo kya Katonda,

2nʼalengera amaato abiri ameereere nga gali kumpi nʼolukalu, nga bannannyinigo abavubi, bagalese awo, nga bayoza obutimba bwabwe.

3Yesu nʼalinnya mu lyato erimu eryali erya Simooni, nʼamusaba alisembezeeko katono mu nnyanja, nʼalituulamu, asinziire omwo okuyigiriza ebibiina.

4Bwe yamala okuyigiriza nʼagamba Simooni nti, “Kale kaakano sembeza eryato lyo ebuziba, mu mazzi amangi, musuule obutimba bwammwe mu nnyanja, mujja kukwasa ebyennyanja bingi!”

5Simooni nʼaddamu nti, “Mukama waffe, twateganye dda ekiro kyonna, naye ne tutakwasa kantu. Naye ggwe nga bwʼotugambye, nzija kusuula obutimba.”

6Awo bwe baakola bwe batyo, obutimba bwabwe bwajjula ebyennyanja, ne butandika nʼokukutuka.

7Ne bawenya ku bannaabwe abaali mu lyato liri eddala bajje babayambe, ne bajja, amaato gombi ne gajjula ebyennyanja, ne gajula nʼokusaanawo.

8Awo Simooni Peetero bwe yakiraba, nʼafukamira mu maaso ga Yesu nʼamugamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde ndeka, kubanga ndi mwonoonyi nnyo.”

9Kubanga obungi bwʼebyennyanja bye baakwasa bwa muwuniikirizza nnyo awamu ne banne bwe baavubanga,

10Yakobo ne Yokaana abaana ba Zebbedaayo.

10Yesu nʼamuddamu nti, “Totya! Okuva kaakano ojjanga kuvuba myoyo gya bantu.”

11Amaato gaabwe olwagoba ku lubalama ne baleka awo byonna ne bagenda naye.

12Mu kibuga Yesu mwe yali akyadde mwalimu omusajja eyali alwadde ebigenge. Bwe yalaba Yesu nʼavuunama mu maaso ge, nʼamwegayirira nti, “Mukama wange, bwʼoba ngʼoyagala, oyinza okunnongoosa.”

13Yesu nʼagolola omukono gwe nʼamukwatako, ngʼagamba nti, “Njagala, longooka.” Amangwago ebigenge byʼomusajja ne bimuwonako.

14Yesu nʼalagira omusajja nti, “Tobaako muntu nʼomu gwʼogamba, naye genda weeyanjule eri kabona oweeyo ekiweebwayo olwʼokulongosebwa nga Musa bwe yalagira, kibeere obujulirwa gye bali.”

15Naye ne yeeyongera bweyongezi okubunya ettutumu lyʼobuyinza bwa Yesu era ebibiina binene ne bikuŋŋaana okumuwulira nʼokuwonyezebwa endwadde zaabwe.

16Naye bwe yasalangawo akabanga, ne yeeyawula nʼalagako mu bifo eteri bantu, okusaba.

17Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze bʼAbayudaaya, nʼabannyonnyozi bʼamateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo ekyʼe Ggaliraaya ne Buyudaaya era nʼe Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya.

18Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali.

19Naye bwe bataasobola kumuyingiza olwʼekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ngʼagalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.

20Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, nʼagamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”

21Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”

22Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, nʼababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe?

23Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule?

24Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana wʼOmuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” Nʼagamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.”

25Amangwago omusajja nʼasituka nʼasitula akatanda kwe yali agalamidde, nʼaddayo ewuwe ngʼagulumiza Katonda.

26Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”

27Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼavaayo nʼalaba omusolooza wʼomusolo, erinnya lye Leevi ngʼatudde omusolo we gukuŋŋaanyizibwa, nʼamugamba nti, “Ngoberera.”

28Leevi nʼaleka awo byonna, nʼasitukiramu nʼamugoberera.

29Awo Leevi nʼafumbira Yesu ekijjulo ekyʼamaanyi mu maka ge. Waaliwo abasolooza banne abʼomusolo bangi, nʼabantu abalala bangi, abaali ku kijjulo ekyo.

30Naye Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka ne beemulugunya, olwʼabayigirizwa be nga bagamba nti, “Lwaki mulya era ne munywa nʼabasolooza bʼomusolo nʼabalina ebibi?”

31Yesu nʼabaanukula nti, “Abalwadde be beetaaga omusawo, so si abo abatali balwadde.

32Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi okwenenya.”

33Kyokka ne bamugamba nti, “Abayigirizwa ba Yokaana batera okusiiba nʼokusaba. Nʼabayigirizwa bʼAbafalisaayo nabo bwe batyo. Naye ababo balya ne banywa.”

34Naye Yesu nʼabagamba nti, “Abagenyi bayinza okusiiba ngʼawasizza omugole akyali nabo?

35Naye ekiseera kijja, awasizza omugole ngʼabaggiddwako olwo ne balyoka basiiba.”

36Awo Yesu nʼabagerera olugero nti, “Tewali ayuza kiwero mu lugoye oluggya alyoke azibise ekituli mu lugoye olukadde. Bwʼakikola, ekiwero ekiggya kiyuza olukadde, nʼekiwero ekiggya tekijja kugendera wamu na lugoye olukadde.

37Era tewali ateeka wayini omusu mu nsawo enkadde ezʼamaliba ga wayini, kubanga wayini omusu ajja kuziyuza ayiike.

38Naye wayini omusu ateekebwa mu nsawo za maliba empya.

39Era tewali anywa ku wayini omukadde ate ayagala okunywa ku wayini omusu. Kubanga agamba nti, ‘Omukadde ye asinga omusu.’ ”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>