1Awo ku lunaku lumu olwa Ssabbiiti, Yesu nʼabayigirizwa be bwe baali bayita mu nnimiro yʼemmere eyʼempeke, abayigirizwa be ne banoga ku birimba byʼemmere eyʼempeke ne babikunya mu ngalo zaabwe, ne balya.
2Naye Abafalisaayo abamu ne bagamba nti, “Lwaki mukola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti?”
3Yesu nʼabaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola, enjala bwe yamuluma nʼabo be yali nabo?
4Yayingira mu nnyumba ya Katonda, nʼaddira emigaati egyʼokulaga, nʼatoola nʼalyako, nʼawaako ne be yali nabo ne balya so ngʼekyo kyali tekikkirizibwa muntu yenna okuggyako bakabona.”
5Nʼabagamba nti, “Omwana wʼOmuntu, ye Mukama wa Ssabbiiti.”
6Ku lunaku lwa Ssabbiiti olulala Yesu yali ngʼayigiriza mu kkuŋŋaaniro nga mulimu nʼomusajja eyalina omukono ogukaze.
7Abannyonnyozi bʼamateeka nʼAbafalisaayo ne bamusimbako amaaso okulaba obanga anaawonya ku Ssabbiiti, babeeko nʼekintu kye baneekwasa bamuvunaane omusango.
8Naye Yesu nʼategeera ebirowoozo byabwe. Nʼagamba omusajja eyalina omukono ogukaze nti, “Situka oyimirire wakati wano.” Nʼasituka nʼayimirira.
9Yesu nʼalyoka agamba Abafalisaayo nʼabannyonnyozi bʼamateeka nti, “Muleke mbabuuze; Kirungi okukola ekirungi ku Ssabbiiti oba okukola ekibi? Kirungi okuwonya obulamu oba okubuzikiriza?”
11Naye ne bajjula obusungu, ne boogera bokka ne bokka kye banaakola Yesu.
12Awo olwatuuka mu nnaku ezo, Yesu nʼalinnya waggulu ku lusozi okusaba, nʼasaba ekiro kyonna eri Katonda.
13Obudde bwe bwakya, nʼayita abayigirizwa be nʼabalondako kkumi nʼababiri, nʼabafuula abatume. Amannya gaabwe ge gano:
14Simooni, gwe yatuuma Peetero, ne Andereya, muganda wa Simooni, ne Yakobo, ne Yokaana, ne Firipo, ne Battolomaayo,
15ne Matayo, ne Tomasi, ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni, owʼomu kibiina kyʼobufuzi ekyʼAbazerote,[4]
16ne Yuda, omwana wa Yakobo, ne Yuda Isukalyoti, oluvannyuma eyamulyamu olukwe.
17Awo Yesu bwe yava ku lusozi awamu nabo, nʼayimirira wansi wʼolusozi mu lusenyi awatereevu, ekibiina kinene ekyʼabayigirizwa be, nʼekibiina kinene ekyʼabantu abaava mu Buyudaaya yonna ne Yerusaalemi nʼebitundu ebyʼoku lubalama lwʼennyanja olwa Ttuulo ne Sidoni,