1Awo Yesu bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo ebyo byonna nʼayingira mu Kaperunawumu.
2Mu kiseera ekyo, omukulu wʼekitongole kyʼabaserikale ekikumi, yalina omuddu we gwe yali ayagala ennyo, yali mulwadde nnyo ngʼali kumpi nʼokufa.
3Omukulu wʼekitongole oyo bwe yawulira ebifa ku Yesu, nʼatuma abamu ku bakulembeze bʼAbayudaaya eri Yesu bamusabe ajje awonye omuddu we.
4Bwe baatuuka eri Yesu ne bamwegayirira nnyo nga bagamba nti, “Omusajja ono asaanira okuyambibwa nga bwʼakusabye,
5kubanga ayagala nnyo eggwanga lyaffe, era ye yatuzimbira ne kkuŋŋaaniro lyaffe!”
6Bwʼatyo Yesu nʼagenda nabo.
7Era kyenavudde nnema okujja gyʼoli nze nzennyini. Naye yogera bwogezi kigambo, omuweereza wange anaawona!
8Kubanga nange nnina abakulu abantwala, ate waliwo nʼabali wansi wange be nninako obuyinza. Bwe ŋŋamba ono nti, ‘Genda,’ agenda, nʼoli nti, ‘Jjangu,’ ajja; nʼomuddu wange nti, ‘Kola kino,’ akikola.”
9Yesu bwe yawulira ebigambo ebyo nʼamwewuunya nnyo, nʼakyukira ekibiina kyʼabantu abaali bamugoberera nʼagamba nti,
10Awo omukulu wʼekitongole be yatuma eri Yesu bwe baddayo mu nnyumba ye, baasanga omuddu awonye.
11Awo ku lunaku olwaddirira, Yesu nʼagenda nʼabayigirizwa be nʼekibiina kinene ne kimugoberera mu kibuga ekiyitibwa Nayini.
12Bwe yali asemberera omulyango gwʼekibuga, laba, abantu ne bafuluma mu kibuga nga beettisse omulambo gwʼomuvubuka eyali mutabani wʼomukazi nnamwandu, ate nga ye mwana we yekka. Ekibiina kyʼabantu abaali bava mu kibuga baali bangi nnyo.
13Awo Mukama waffe bwe yalaba nnamwandu nʼamusaasira, nʼamugamba nti,
14Nʼasemberera essanduuko, abaali bagisitudde ne bayimirira, Yesu nʼayogera nti,
15Eyali afudde nʼatuula era nʼatandika okwogera. Yesu nʼamuddiza nnyina.
16Buli omu nʼajjula entiisa, ne batendereza Katonda nga bagamba nti, “Nnabbi owʼamaanyi atulabikidde, era Katonda akyalidde abantu be.”
17Ebigambo ebyo ne bibuna Buyudaaya yonna nʼokwetooloola emiriraano gyayo.
18Awo abayigirizwa ba Yokaana Omubatiza ne bategeeza Yokaana ebintu ebyo ebyo. Yokaana nʼayita abayigirizwa be babiri,
19nʼabatuma eri Mukama waffe okumubuuza nti, “Ggwe wuuyo gwe tusuubira okujja, oba tulindirirayo omulala?”
20Abayigirizwa ba Yokaana bwe baatuuka eri Yesu, ne bamutegeeza nti, “Yokaana Omubatiza atutumye okukubuuza nti, Ggwe wuuyo ajja oba tulindirirayo omulala?”
21Mu kiseera ekyo Yesu nʼawonya endwadde nnyingi eza buli ngeri: nʼabalema, nʼabaaliko emyoyo emibi, nʼazibula nʼabazibe bʼamaaso.
22Abaatumibwa nʼabaddamu nti,
23
24Awo ababaka ba Yokaana bwe baagenda, Yesu nʼabuulira ekibiina ebikwata ku Yokaana. Nʼababuuza nti,
25
26
27
28
29Abantu bonna, awamu nʼabasolooza bʼomusolo, bwe baawulira ebigambo bya Yesu ebyo, ne batendereza Katonda, kubanga baali babatiziddwa mu kubatizibwa kwa Yokaana.
30Naye Abafalisaayo nʼabayigiriza bʼamateeka ne bagaana ebyo Katonda bye yabategekera, kubanga tebaabatizibwa Yokaana.
31Awo Yesu nʼabuuza nti,
32
33
34
35
36Awo omu ku Bafalisaayo nʼayita Yesu ku kijjulo, Yesu nʼayingira mu nnyumba, nʼatuula ku mmeeza.
37Awo omukazi owʼomu kibuga ekyo nga mwonoonyi, eyali ategedde nga Yesu ali mu nju eyo eyʼOmufalisaayo, nʼaleeta eccupa yʼamafuta agʼakaloosa.
38Nʼayimirira awali Yesu, nʼakaaba, amaziga ne gatonnya ku bigere bya Yesu ne bitoba. Omukazi nʼabisiimuuza enviiri ze, era nʼabinywegera; nʼabifukako amafuta agʼakaloosa.
39Naye Omufalisaayo eyayita Yesu, ebyo bwe yabiraba, nʼagamba munda ye nti, “Singa omuntu ono abadde nnabbi, yanditegedde omukazi amukwatako kyali era nga bwʼali omwonoonyi!”
40Awo Yesu nʼamugamba nti,
41
42
43Simooni nʼaddamu nti, “Ndowooza oyo gwe yasonyiwa ebbanja erisingako obunene.” Yesu nʼamugamba nti,
44Nʼalyoka akyukira omukazi nʼagamba Simooni nti,
45
46
47
48Awo Yesu nʼagamba omukazi nti,
49Abo abaali ne Yesu ku mmeza ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani asonyiwa nʼebibi?”
50Yesu nʼagamba omukazi nti,