Lukka 8:1-56 LGCB2014 - Bible AI

1Oluvannyuma lwʼebyo Yesu nʼagenda ngʼakyalira ebibuga ebinene nʼebitono ngʼabuulira Enjiri yʼobwakabaka bwa Katonda, nʼabayigirizwa be ekkumi nʼababiri nga bali naye.

2Waaliwo nʼabakazi Yesu be yali agobyeko emyoyo emibi ne be yali awonyezza endwadde. Mu bo mwe mwali ne Maliyamu eyayitibwanga Magudaleene gwe yagobako baddayimooni omusanvu,

3ne Jowaana muka Kuza eyali omukulu wʼolubiri lwa Kerode; ne Susaana, nʼabalala bangi, abaatoolanga ku byabwe ne balabirira Yesu nʼabayigirizwa be.

4Awo ekibiina kinene bwe kyali kikuŋŋaana, nga nʼabantu abava mu buli kibuga bajja eri Yesu, Yesu nʼabagerera olugero luno nti,

5“Omulimi yagenda mu nnimiro ye okusiga ensigo. Bwe yatandika okusiga ensigo, ezimu ne zigwa ku mabbali gʼekkubo ne bazirinnyirira, nʼebinyonyi ebyʼomu bbanga ne bizirya.

6Ensigo endala zaagwa ku lwazi, bwe zaamera ne zikala kubanga tezaalina mazzi.

7Ensigo endala zaagwa mu maggwa, bwe zaamera nʼamaggwa nago ne gakula ne gazizisa.

8Naye ensigo endala nʼazisiga mu ttaka eddungi, ne zikula ne zibala ebibala emirundi kikumi.” Nʼamaliriza ngʼagamba nti, “Alina amatu okuwulira awulire.”

9Abayigirizwa be ne bamubuuza amakulu gʼolugero olwo.

10 Nʼabaddamu nti, “Mmwe muweereddwa omukisa okumanya ebyama byʼobwakabaka bwa Katonda, naye abalala, njogera gye bali mu ngero,

10‘bwe batunula baleme kulaba, bwe bawulira baleme kutegeera.’

11“Kale, amakulu gʼolugero olwo ge gano: Ensigo kyʼekigambo kya Katonda.

12Ensigo ezaagwa ku mabbali gʼekkubo, be bawulira ekigambo, naye Setaani nʼajja nʼakibaggyako mu mutima gwabwe, si kulwa nga bakkiriza ne balokolebwa.

13Ezaagwa ku lwazi be bawulira ne basanyukira ekigambo, kyokka ne kitaba na mizzi. Be bakkiriza, naye okugezesebwa bwe kujja ne bagwa.

14Ezaagwa mu maggwa, be bawulira ekigambo, naye okweraliikirira nʼobugagga nʼamasanyu gʼomu bulamu ne bibazisa, ne bataleeta bibala bikuze bulungi.

15Naye ezaagwa ku ttaka eddungi be bantu abalungi era abeesigwa, era bakuuma ekigambo ku mitima ne babala ebibala nʼobugumiikiriza.

16“Tewali muntu akoleeza ttaala ate nagisaanikirako akalobo oba nʼagissa wansi wʼekitanda. Agiwanika waggulu ku kikondo, olwo lwʼesobola okumulisiza abantu abayingira.

17Kubanga tewali kintu na kimu ekyakwekebwa ekitalikwekulwa, era tewali na kimu ekitalimanyibwa mu Lwatu.

18Noolwekyo mwegendereze nga muwuliriza, kubanga oyo alina alyongerwako; naye oyo atalina, nʼekyo kyʼalowooza nti alina kigenda kumuggyibwako.”

19Awo nnyina ne baganda ba Yesu ne bajja okumulaba, naye ne batasobola kumutuukako olwʼekibiina kyʼabantu ekinene.

20Ne wabaawo amubuulira nti, “Nnyoko ne baganda bo obwedda bayimiridde wabweru, baagala kukulabako.”

21Yesu nʼaddamu nti, “Mmange ne baganda bange be bano abawulira ekigambo kya Katonda ne bakigondera.”

22Lwali lumu Yesu nʼalinnya mu lyato nʼabayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Tuwunguke tugende emitala wʼennyanja.” Ne basimbula okugenda.

23Bwe baali baseeyeeya Yesu ne yeebaka. Awo omuyaga ogwʼamaanyi ne gukunta ku nnyanja, nʼeryato ne liyuuga nnyo, ne baba mu kabi kanene.

24Abayigirizwa ne bamuzuukusa, ne bagamba nti, “Mukama waffe, Mukama waffe, tusaanawo!” Nʼazuukuka nʼaboggolera omuyaga nʼamazzi agaali geefuukudde. Ne bikkakkana, ennyanja nʼetteeka!

25Nʼalyoka abagamba nti, “Okukkiriza kwammwe kuluwa?”

25Ne batya, ne beewuunya nnyo, ne bagambagana nti, “Omuntu ono ye ani? Alagira omuyaga nʼamazzi ne bimugondera!”

26Awo ne bagoba emitala wʼeri mu nsi yʼAbageresene eyolekedde Ggaliraaya.

27Awo Yesu bwe yava mu lyato omusajja eyaliko baddayimooni nʼajja okumusisinkana ngʼava mu kibuga. Omusajja oyo yali amaze ebbanga ddene nga tayambala ngoye, nga tasula na mu nju, wabula ngʼasula mu ntaana.

28Awo bwe yalaba Yesu nʼawowoggana nʼagwa wansi mu maaso ga Yesu, nʼaleekaana nti, “Onjagaza ki, Yesu, Omwana wa Katonda Ali Waggulu Ennyo? Nkwegayiridde tombonyaabonya!”

29Kubanga Yesu yali alagidde omwoyo omubi guve ku musajja oyo. Emirundi mingi yalumbibwanga nʼamaanyi mangi, ne bwe baamusibanga nʼenjegere, nʼakuumibwa mu masamba, yabikutulanga, ddayimooni nʼamulaza mu ddungu.

30Awo Yesu nʼabuuza omusajja nti, “Erinnya lyo ggwe ani?”

30Omusajja nʼaddamu nti, “Nze Ligyoni,” kubanga omusajja yaliko baddayimooni bangi.

31Baddayimooni ne beegayirira Yesu aleme okubagobera mu bunnya obutakoma.

32Waaliwo eggana lyʼembizzi, awo ku lusozi, nga lirya, baddayimooni ne beegayirira Yesu abasindike mu mbizzi ezo. Yesu nʼabakkiriza.

33Baddayimooni ne bava ku musajja ne bayingira mu mbizzi, amangwago eggana lyonna ne lifubutuka nga liserengeta olusozi, ne lyewanula ku bbangabanga, ne ligwa mu nnyanja, embizzi zonna ne zisaanawo.

34Abalunzi bʼembizzi ezo bwe baakiraba, ne badduka embiro ne bagenda, ne bategeeza abʼomu malundiro ne mu kibuga, ebintu byonna ebibaddewo.

35Ekibiina kyʼabantu ne bagenda okulaba ebibaddewo ne bajja eri Yesu, ne balaba omusajja eyagobwako baddayimooni ngʼatudde awo awali ebigere bya Yesu ngʼayambadde engoye era nga mulamu ddala! Ne batya nnyo.

36Abo abaaliwo okusookera ddala ne bategeeza abalala ngʼomusajja eyaliko ddayimooni bwe yawonyezebwa.

37Awo abantu bonna abʼensi eyo eyʼAbagerasene ne basaba Yesu abaviire, kubanga baali batidde nnyo. Nʼasaabala mu lyato nʼavaayo.

38Omusajja, eyagobwako baddayimooni nʼamusaba agende naye, naye Yesu nʼagaana.

39Nʼagamba omusajja nti, “Ddayo ewammwe obategeeze Katonda byʼakukoledde.” Omusajja nʼagenda ngʼategeeza buli gwe yasanganga mu kibuga, Yesu bye yali amukoledde.

40Yesu bwe yakomawo ekibiina kyʼabantu ne bamwaniriza nʼessanyu kubanga bonna baali bamulindirira.

41Mu kiseera ekyo ne wajjawo omusajja erinnya lye Yayiro, eyali omukulembeze wʼekkuŋŋaaniro, nʼagwa ku bigere bya Yesu nʼamwegayirira ajje mu maka ge,

42kubanga muwala we omu yekka gwe yalina, eyali aweza emyaka nga kkumi nʼebiri yali afa.

42Yesu nʼagenda naye, naye ngʼekibiina kimunyigiriza.

43Mu kibiina kyʼabantu ekyo mwalimu omukazi eyali amaze emyaka kkumi nʼebiri ngʼalwadde ekikulukuto kyʼomusaayi. Yali atambudde nnyo mu basawo era nga bamumazeeko ebintu bye byonna ngʼabasasula, naye ne watabaawo asobola kumuwonya.

44Omukazi ono nʼasemberera Yesu ngʼamuvaako emabega, nʼakoma ku lukugiro lwʼekyambalo kya Yesu, ekikulukuto kyʼomusaayi ne kiwona mu kaseera ako kennyini!

45Yesu nʼabuuza nti, “Ani ankutteko?” Bonna ne beegaana, naye Peetero nʼagamba nti, “Mukama waffe, ekibiina kyʼabantu kinene abakwetoolodde era abantu bangi bakunyigiriza.”

46Naye Yesu nʼaddamu nti, “Waliwo ankutteko kubanga mpulidde ngʼamaanyi ganvaamu.”

47Awo omukazi bwe yategeera ngʼavumbuddwa, nʼajja ngʼakankana nʼafukamira mu maaso ga Yesu, nʼannyonnyola mu maaso gʼabantu bonna ensonga kyeyavudde amukwatako, era nti nʼobulwadde bwe bwawoneddewo!

48Yesu nʼagamba omukazi nti, “Mwana wange, okukkiriza kwo kukuwonyezza. Genda mirembe.”

49Awo Yesu bwe yali ngʼakyayogera omuntu nʼatuuka ngʼava mu maka gʼomukulu wʼekkuŋŋaaniro, nʼagamba Yayiro nti, “Muwala wo afudde! Omuyigiriza toyongera kumuteganya.”

50Naye Yesu bwe yakiwulira nʼamugamba nti, “Totya! Kkiriza bukkiriza, ajja kuba mulamu.”

51Awo Yesu bwe yatuuka ku nnyumba ya Yayiro, nʼatakkiriza bantu balala kuyingira naye mu nju wabula Peetero, ne Yokaana, ne Yakobo, ne kitaawe wʼomwana, ne nnyina.

52Mu kiseera ekyo abantu bonna baali bakaaba nga bakungubagira omwana oyo. Yesu nʼabagamba nti, “Mulekeraawo okukaaba! Omuwala tafudde wabula yeebase bwebasi!”

53Ne bamusekerera nnyo, kubanga bonna baali bamanyi ngʼomuwala afudde.

54Naye Yesu nʼakwata omuwala eyali afudde ku mukono, nʼakoowoola ngʼagamba nti, “Omuwala, golokoka!”

55Amangwago nʼaba mulamu, nʼasituka nʼayimirira. Yesu nʼabalagira bamuwe ekyokulya.

56Bazadde bʼomuwala ne beewuunya, naye Yesu nʼabakuutira obutabuulirako muntu yenna ebibaddewo.

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>