Lukka 9:1-62 LGCB2014 - Bible AI

1Awo olunaku lwali lumu Yesu nʼayita abayigirizwa be ekkumi nʼababiri bonna awamu, nʼabawa obuyinza okugoba baddayimooni ku bantu nʼokuwonya endwadde.

2Nʼabatuma bagende bategeeze abantu ebigambo byʼobwakabaka bwa Katonda era bawonye nʼabalwadde.

3Nʼabalagira nti, “Temwetwalira kintu kyonna nga mugenda, wadde omuggo, oba ensawo, oba emmere, wadde ffeeza wadde essaati ebbiri.

4Na buli nnyumba mwe muyingiranga, mubeerenga omwo, era mwe muba muvanga.

5Bwe muyingiranga mu kibuga, abantu baamu ne batabaaniriza, mubaviirenga, era bwe mubanga mufuluma mu kibuga ekyo mukunkumulanga enfuufu ku bigere byammwe, ebe omujulirwa eri bo.”

6Ne bagenda nga bava mu kibuga ekimu nga badda mu kirala, nga babuulira Enjiri buli wamu era nga bawonya.

7Awo Kerode eyali afuga Ggaliraaya bwe yawulira ebintu ebyo byonna, nʼasoberwa, kubanga abantu abamu baali bagamba nti, “Yokaana azuukidde mu bafu,”

8nʼabalala nti, “Eriya yali alabise,” nʼabalala nti, “Omu ku bannabbi abʼedda azuukidde mu bafu.”

9Naye Kerode ne yeebuuza nti, “Yokaana namutemako omutwe; naye ate kale ono ye ani gwe mpulirako ebigambo bino byonna?” Nʼayagala okulaba Yesu.

10Awo abatume bwe baakomawo ne bategeeza Yesu bye baakola. Yesu nʼabatwala mu kyama ne bagenda bokka mu kibuga ekiyitibwa Besusayida.

11Naye ebibiina bwe baakitegeera ne kimugoberera. Yesu nʼabaaniriza, nʼabayigiriza ebigambo ebikwata ku bwakabaka bwa Katonda, nʼabaali abalwadde nʼabawonya.

12Obudde bwe bwawungeera abayigirizwa ekkumi nʼababiri ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Abantu bagambe bagende mu bibuga ebyetoolodde wano ne mu byalo beefunire we banaafuna ku mmere nʼokusula, kubanga wano tuli mu ttale jjereere.”

13Yesu nʼabaddamu nti, “Mmwe mubawe ekyokulya!” Abayigirizwa be ne bamuddamu nti, “Wano tulinawo emigaati etaano gyokka nʼebyennyanja bibiri, mpozi nga tugenda tugulire abantu bano bonna emmere.”

14Waaliwo abasajja ngʼenkumi ttaano. Naye Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mutuuze abantu mu bibiina byʼabantu ngʼamakumi ataano buli kimu.”

15Abayigirizwa ne bakola bwe batyo, bonna ne batuula.

16Awo Yesu nʼaddira emigaati etaano nʼebyennyanja ebibiri nʼatunula eri eggulu, ne yeebaza, nʼamenyaamenya emigaati nʼebyennyanja, nʼawa abayigirizwa be bagabule abantu.

17Bonna ne balya ne bakkuta, era obutundutundu obwalema bwe bwakuŋŋaanyizibwa ne bujjuza ebibbo kkumi na bibiri.

18Lwali lumu Yesu bwe yali ngʼasaba yekka kyokka nga nʼabayigirizwa be bali awo, nʼababuuza nti, “Ebibiina bimpita ani?”

19Ne baddamu nti, “Abamu bagamba nti Yokaana Omubatiza, abalala nti Eriya, ate nga waliwo abagamba nti Omu ku bannabbi abʼedda yʼazuukidde.”

20Yesu kwe kubabuuza nti, “Naye mmwe mumpita ani?” Peetero nʼaddamu nti, “Ggwe Kristo wa Katonda.”

21Awo Yesu nʼabakuutira, ngʼabalagira obutakitegeezaako muntu yenna,

22nʼabategeeza nti, “Kigwanidde, Omwana wʼOmuntu, okubonaabona ennyo, nʼokugaanibwa abakulembeze bʼAbayudaaya, ne bakabona abakulu, nʼabannyonnyozi bʼamateeka, nʼokuttibwa, naye ku lunaku olwokusatu okuzuukizibwa!”

23Era bonna nʼabagamba nti, “Omuntu yenna ayagala okungoberera asaana yeefiirize yekka yeetikke omusaalaba gwe buli lunaku, angoberere!

24Kubanga buli ayagala okulokola obulamu bwe, alibufiirwa. Na buli alifiirwa obulamu bwe ku lwange alibulokola.

25Kubanga omuntu kirimugasa ki okulya ensi yonna, naye nʼafiirwa obulamu bwe?

26Buli alinkwatirwa ensonyi, nze nʼebigambo byange, nʼOmwana wʼOmuntu, alimukwatirwa ensonyi, bwʼalijja mu kitiibwa kye ne mu kya Kitaawe ne mu kya bamalayika abatukuvu.

27Naye ddala ddala mbagamba nti Abamu ku abo abayimiridde wano waliwo abatalirega ku kufa okutuusa nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda.”

28Awo nga wayiseewo ngʼennaku munaana, Yesu nʼatwala Peetero ne Yokaana ne Yakobo ne bambuka ku lusozi okusaba.

29Bwe yali ngʼasaba endabika yʼamaaso ge nʼekyusibwa, ebyambalo bye ne byeruka ne bitukula nnyo era ne byakaayakana.

30Awo abantu babiri ne balabika nga banyumya ne Yesu, omu yali Musa nʼomulala Eriya,

31abaali bamasamasa mu kitiibwa kyabwe nga boogera ku kufa kwa Yesu, kwe yali agenda okutuukiriza mu Yerusaalemi.

32Peetero ne banne otulo twali tubakutte era nga beebase, Bwe baazuukuka ne balaba ekitiibwa kya Yesu nʼabantu ababiri abaali bayimiridde naye.

33Awo Musa ne Eriya bwe baali bagenda, Peetero nga tamanyi ne kyayogera, nʼagamba nti, “Mukama wange kirungi ffe okubeera wano. Ka tuzimbe wano ensiisira ssatu, emu yiyo, endala ya Musa nʼendala ya Eriya!”

34Naye yali akyayogera ebyo ekire ne kibabikka, abayigirizwa ne bajjula okutya nga kibasaanikidde.

35Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!”

36Eddoboozi bwe lyasiriikirira, Yesu nʼasigalawo yekka. Abayigirizwa abo bye baalaba ne bye baawulira ne babikuuma mu mitima gyabwe, ne batabibuulirako muntu yenna mu kiseera ekyo.

37Awo enkeera bwe baakomawo nga bava ku lusozi, ekibiina ekinene ne kijja okusisinkana Yesu.

38Omusajja eyali mu kibiina nʼayogerera waggulu ngʼagamba nti, “Omuyigiriza, nkwegayiridde tunula ku mutabani wange ono kubanga yekka gwe nnina.

39Kubanga dayimooni buli bbanga amukwata nʼamuwowogganya, era nʼamukankanya nʼabimba ejjovu nʼamusuula eri era tayagala kumuleka, amumaliramu ddala amaanyi.

40Neegayiridde abayigirizwa bo bamumugobeko, naye ne batasobola.”

41Awo Yesu nʼaddamu nti, “Mmwe omulembe ogutakkiriza era ogwakyama, ndibeera nammwe kutuusa ddi? Era ndibagumiikiriza kutuusa ddi? Leeta wano omwana wo.”

42Omulenzi bwe yali ajja eri Yesu dayimooni nʼamusuula wansi nʼamukankanya nnyo. Yesu nʼaboggolera omwoyo omubi nʼawonya omwana, nʼamuddiza kitaawe.

43Abantu bonna ne beewuunya obuyinza bwa Katonda. Awo buli muntu bwe yali akyewuunya ebyʼekitalo ebyo Yesu bye yali akola, nʼagamba abayigirizwa be nti,

44“Muwulirize nnyo kye ŋŋenda okubagamba. Omwana wʼOmuntu, agenda kuliibwamu olukwe.”

45Naye abayigirizwa tebaategeera kyʼagambye nʼamakulu gaakyo. Kubanga kyali kibakwekebbwa, baleme okutegeera ate nga batya okukimubuuza.

46Awo empaka ne zisituka mu bayigirizwa ba Yesu, nga bawakanira aliba omukulu mu bo.

47Naye Yesu bwe yategeera ebirowoozo byabwe nʼaddira omwana omuto nʼamuyimiriza wʼali.

48Nʼabagamba nti, “Buli muntu asembeza omwana ono omuto mu linnya lyange ngʼasembezezza Nze, na buli ansembeza aba asembezezza oyo eyantuma. Oyo asembayo okuba owa wansi mu mmwe, ye mukulu okubasinga.”

49Awo Yokaana nʼagamba Yesu nti, “Mukama waffe, twalaba omuntu ngʼagoba baddayimooni mu linnya lyo ne tugezaako okumuziyiza kubanga tayita naffe.”

50Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Temumuziyizanga kubanga oyo atalwana nammwe abeera ku ludda lwammwe.”

51Awo ekiseera ekyʼokulinnya kwe mu ggulu bwe kyali kisembedde, nʼamalirira okugenda e Yerusaalemi.

52Nʼatuma ababaka mu maaso ne balaga mu kibuga kyʼAbasamaliya okumutegekera.

53Naye abantu bʼeyo ne batamwaniriza, kubanga yali amaliridde okulaga mu Yerusaalemi.

54Abayigirizwa Yakobo ne Yokaana bwe baakiraba ne babuuza Yesu nti, “Mukama waffe, tuyite omuliro okuva mu ggulu gubazikirize?”

55Naye Yesu nʼakyuka nʼabanenya.

56Ne bagenda mu kabuga akalala.

57Awo bwe baali bali mu kkubo omu ku bo nʼamugamba nti, “Nnaakugobereranga wonna wʼonoogendanga.”

58Yesu nʼamugamba nti, “Ebibe birina obunnya bwabyo mwe bisula, nʼennyonyi zirina ebisu, naye Omwana wʼOmuntu, talina wʼassa mutwe gwe.”

59Nʼagamba omusajja omulala nti, “Ngoberera.” Omusajja nʼaddamu nti, “Mukama wange, ndeka mmale okugenda okuziika kitange.”

60Yesu nʼamugamba nti, “Leka abafu baziike abafu baabwe, naye ggwe genda olangirire obwakabaka bwa Katonda.”

61Nʼomulala nʼagamba Yesu nti, “Nnaakugobereranga Mukama wange. Naye sooka ondeke mmale okusiibula abʼomu maka gange.”

62Naye Yesu nʼamuddamu nti, “Omuntu yenna akwata ekyuma ekirima mu ngalo ze ate nʼatunula emabega, tasaanira bwakabaka bwa Katonda.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>