1Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala nʼegwa mu nsi. Awo omusajja owʼe Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu.
2Erinnya lyʼomusajja yali Erimereki, erya mukazi we Nawomi, nʼamannya ga batabani be bombi, Maloni ne Kiriyoni. Baali Bayefulaasi
3Naye Erimereki bba wa Nawomi nʼafa; nnamwandu Nawomi nʼasigalawo ne batabani be bombi.
4Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, nʼomulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
5Oluvannyuma Maloni ne Kiriyoni ne bafa,
6Bwe yawulira ngʼali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be nʼabawa emmere, nʼagolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri.
7Ye ne baka baana be, ne bava mu kifo mwe baali, ne bakwata ekkubo okuddayo mu nsi ya Yuda.
8Awo Nawomi nʼagamba baka baana be nti, “Mugende muddeeyo buli muntu mu nnyumba ya nnyina
9Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” Nʼalyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga,
10nga bagamba nti, “Nedda, tuligenda naawe ngʼoddayo eri abantu bo.”
11Naye Nawomi nʼabagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe
12Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi;
13mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
14Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa nʼanywegera nnyazaala we, nʼamusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
15Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.”
16Naye Luusi nʼamwegayirira ngʼagamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gyʼonoogendanga, nange gye nnaagendanga, gyʼonooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo yʼanaaberanga Katonda wange.
17Gyʼolifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.”
18Awo Nawomi bwe yalaba nga Luusi amaliridde okugenda naye, nʼatayongerako kigambo kirala.
19Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
20Bwe yawulira ekyo, nʼabaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange nʼokukaawa bunkayiridde.
21Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
22Bwʼatyo Nawomi nʼakomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera ekyʼokukungula sayiri