1Nawomi yalina mulamu we, ngʼava mu kika kya bba, Erimereki, nga mugagga, erinnya lye nga ye Bowaazi.
2
3Amangwago, nʼagenda, nʼatandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ngʼatuuse mu nnimiro ya Bowaazi, owʼomu kika kya Erimereki.
4Mu kiseera kye kimu Bowaazi nʼatuuka okuva e Besirekemu, nʼagamba abakunguzi be nti, “Mukama Katonda abeere nammwe.”
5Awo Bowaazi nʼabuuza nampala wa bakunguzi be nti, “Omuwala ono wʼani?”
6Nʼamuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu.
7Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obwʼenkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
8Awo Bowaazi nʼagamba Luusi nti, “Wuliriza, muwala ggwe. Togendanga nʼolondanga mu nnimiro endala yonna, tovanga mu eno, naye obeeranga wamu nabaweereza bange abawala.
9Gendereranga ennimiro basajja bange mwe bamaze okukungula, era ogobererenga abawala. Abasajja mbalagidde obutakutawanya. Era ennyonta bwʼekulumanga, onywenga ku mazzi abasajja ge basenye.”
10Awo Luusi bwe yawulira ebyo, nʼavuunama ku ttaka, ngʼagamba nti, “Ngʼondaze ekisa mu maaso go, nʼonfaako nze, munnaggwanga.”
11Naye Bowaazi nʼaddamu nti, “Byʼokoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era nʼabantu bo nʼojja mu nsi eyʼabantu botomanyi, babintegezezza byonna.
12Mukama Katonda wa Isirayiri gwe weeyuna wansi wʼebiwaawaatiro bye, akusasule olwʼebyo byʼokoze, era akuwe empeera ennene ddala.”
13Awo Luusi nʼaddamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
14Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi nʼagamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse
15Oluvannyuma ngʼokulya kuwedde, nʼagolokoka agende alonde, era Bowaazi nʼalagira abaddu be nti, “Ne bwʼanaalonda mu binywa temumugaana.
16Wakiri, mumuleke yerondere mu miganda so temumuwuuna.”
17Awo Luusi nʼalonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma nʼawuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, nʼaweza nga kilo kkumi na ssatu.
18Yonna nʼagyetikka, nʼagitwala mu kibuga, ne nnyazaala we nʼagiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
19Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era nʼamubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro yʼani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi nʼabuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, nʼerinnya lyʼomwami nga ye Bowaazi.
20
21Luusi Omumowaabu nʼayongerako nti, “Nʼokuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu nʼabakozi be okutuusa lwe balimala ebyʼokukungula bye.”
22Awo Nawomi nʼagamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro yʼomulala akabi kayinza okukutuukako.”
23Awo Luusi nʼabeeranga kumpi nʼabaweereza ba Bowaazi ngʼalonda okutuusa amakungula ga sayiri nʼeŋŋaano bwe gaggwa, nʼabeeranga wamu ne nnyazaala we.