Luusi 3:1-18 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Nawomi nnyazaala wa Luusi nʼamugamba nti, “Lwaki sikunoonyeza maka agʼokubeeramu, bakulabiririre eyo?

2Ewa Bowaazi gyʼobadde nʼabaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ngʼawewa sayiri mu gguuliro.

3Kale naaba osaabe obuwoowo, era oyambale engoye zo ezisinga obulungi. Oluvannyuma oserengete mu gguuliro[8]; naye tomuganya kumanya nti wooli, okutuusa ngʼamaze okulya nʼokunywa.

4Oluvannyuma ngʼagalamiddeko wansi, weetegereze ekifo wʼagalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira ekyʼokukola.”

5Awo Luusi nʼamugamba nti, “Nzija kukola nga bwʼondagidde.”

6Nʼaserengeta mu gguuliro, nʼakola byonna nga nnyazaala we bwe yamulagira.

7Awo Bowaazi bwe yamala okulya nʼokunywa, era nga musanyufu, nʼagenda nʼagalamira ku mabbali gʼentuumo ye ŋŋaano. Luusi naye nʼasooba mpola mpola, nʼabikkula ku bigere bye, nʼagalamira awo kumpi naye.

8Ekiro mu ttumbi, Bowaazi ne yeekanga, bwe yeekyusa nʼalaba omukazi agalamidde kumpi ne bigere bye.

9Nʼamubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi nʼaddamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika[9].”

10Bowaazi nʼamuddamu nti, “Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olwʼekisa ekinene kyondaze okusinga ekyʼolubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu.

11Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna kyʼonoosaba. Abantu bange bonna abʼomu kibuga, bamanyi ngʼoli mukazi mwegendereza.

12 Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako.

13Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bwʼanaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bwʼanaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bwʼali omulamu, nnaakutwala.”

14Nʼagalamira kumpi nʼebigere bye okutuusa enkeera, naye nʼagolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi nʼamukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.”

15Era nʼamugamba aleete omunagiro gwʼayambadde; nʼagukwata, nʼamugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, nʼabimutikka, oluvannyuma Luusi nʼaddayo mu kibuga.

16Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi nʼamubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” Nʼamubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde,

17era nʼayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, nʼaŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”

18Nawomi nʼamugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lwʼanagimala.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
/div>