1Awo Bowaazi nʼayambuka ku wankaaki we kibuga nʼatuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi nʼamuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye nʼakkiriza, nʼagenda nʼatuula we yali.
2Bowaazi nʼayita nʼabasajja kkumi ku bakadde bʼekibuga ne bajja ne batuula awo.
3Nʼalyoka agamba muganda we nti, “Nawomi, eyakomyewo okuva mu Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe omugenzi Erimereki.
4Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso gʼabakadde baffe. Bwʼoba ngʼoyagala okukinunula kinunule. Naye bwʼoba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”
5Awo Bowaazi nʼamugamba nti, “Olunaku lwʼoligula ekibanja ekyo ku Nawomi, ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu naye olimutwala, erinnya lye yafa nʼolikuuma nʼebintu bye nʼobirabirira.”
6Amangwago, omusajja nʼaddamu nti, “Nze sisobola kukinunula kubanga nnyinza okwonoona obusika bwange. Noolwekyo gwe kinunule.”
7(Edda mu Isirayiri, empisa eyʼokununula nʼokuwaanyisa, yali nga bwʼeti: omuntu omu yaggyangamu engatto
8Awo omusajja nʼagamba nti, “Kyegulire.” Amangwago Bowaazi nʼaggyamu engatto ye.
9Bowaazi nʼalangirira eri abakadde nʼabantu bonna nti, “Olwaleero, nguze ku Nawomi ebintu byonna ebya Erimereki, nʼebya Kiriyoni nʼebya Maloni, era mmwe muli bajulirwa.
10
11Awo abakadde nʼabantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya
12era nʼezzadde Mukama Katonda lyʼanaakuwa mu mukazi oyo, libeere ngʼennyumba ya Pereezi
13Awo Bowaazi nʼawasa Luusi okuba mukazi we, nʼayingira gyʼali, nʼaba olubuto, Mukama Katonda nʼamusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi.
14Abakyala ne bagamba Nawomi nti, “Mukama Katonda yeebazibwe, oyo atakulese nga tolina mununuzi olunaku lwa leero. Era erinnya lyʼomwana lyatiikirire mu Isirayiri yonna!
15Kubanga muka mwana wo akwagala, alizza obuggya obulamu bwo nʼakuwanirira mu bukadde bwo; era akusingira abaana omusanvu, be yandizadde.”
16Awo Nawomi nʼatwala omwana, nʼamuwambaatira mu kifuba kye, nʼamulabirira.
17Abakyala abʼoku muliraano ne bagamba nti, “Ewa Nawomi ezaaliddwayo omwana.” Ne bamutuuma erinnya Obedi, oyo ye kitaawe wa Yese, era jjajja wa Dawudi.
18Luno lwe lunyiriri lwa Pereezi:
19
20
21
22