1Entandikwa yʼEnjiri ya Yesu Kristo, Omwana wa Katonda.
2
3
4Yokaana yajja ngʼabatiriza mu ddungu, ngʼabuulira okubatiza okwʼokwenenya olwʼokusonyiyibwa ebibi.
5Ensi yonna eyʼe Buyudaaya nʼabantu bonna abʼomu Yerusaalemi, ne bagendanga gyʼali, nʼababatiza mu mugga Yoludaani nga baatula ebibi byabwe.
6Yokaana yayambalanga ekyambalo ekyʼobwoya bwʼeŋŋamira, ne yeesibanga olukoba olwʼeddiba mu kiwato kye, era yalyanga nzige na mubisi gwa njuki.
7Yabuuliranga ngʼagamba nti, “Waliwo omuntu omukulu era ansinga amaanyi ajja okujja, gwe sisaanira na kusumulula bukoba bwa ngatto ze.
8Nze mbabatiza na mazzi, naye ye alibabatiza na Mwoyo Mutukuvu.”
9Awo olwatuuka mu nnaku ezo Yesu nʼava e Nazaaleesi mu Ggaliraaya nʼajja, Yokaana nʼamubatiza mu mugga Yoludaani.
10Awo Yesu bwe yali yaakava mu mazzi, nʼalaba eggulu nga libikkuse, ne Mwoyo ngʼali ngʼejjiba ngʼamukkako.
11Eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa, ggwe, gwe nsanyukira ennyo.”
12Amangwago Mwoyo nʼamutwala mu ddungu.
13Nʼamalayo ennaku amakumi ana ngʼali nʼensolo ezʼomu nsiko, ngʼakemebwa Setaani, kyokka nga bamalayika bamuweereza.
14Oluvannyuma nga Yokaana Omubatiza amaze okusibwa mu kkomera, Yesu nʼajja mu Ggaliraaya okubuulira Enjiri ya Katonda,
15ngʼagamba nti,
16Awo Yesu yali ngʼayita ku lubalama lwʼennyanja yʼe Ggaliraaya, nʼalaba Simooni ne muganda we Andereya nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja; kubanga baali bavubi.
17Yesu nʼabagamba nti,
18Amangwago ne baleka obutimba bwabwe ne bamugoberera.
19Bwe yeeyongerayo katono, nʼalaba Yakobo ne Yokaana batabani ba Zebbedaayo, nga bali mu lyato baddaabiriza obutimba bwabwe.
20Amangwago nʼabayita ne baleka kitaabwe Zebbedaayo mu lyato nʼabapakasi, ne bagoberera Yesu.
21Awo ne bayingira mu Kaperunawumu. Amangwago nʼayingira mu kuŋŋaaniro ku Ssabbiiti, nʼabayigiriza.
22Ne beewuunya okuyigiriza kwe, kubanga yabayigiriza nga nannyini buyinza, so si ngʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baakolanga.
23Amangwago ne walabika omusajja eyaliko omwoyo omubi mu ssinzizo, nʼawowoggana,
24ngʼagamba nti “Otwagaza ki Yesu Omunnazaaleesi? Ozze okutuzikiriza? Nkumanyi gwe Mutukuvu wa Katonda.”
25Awo Yesu nʼaguboggolera ngʼagamba nti,
26Awo omwoyo omubi ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako.
27Buli omu ne yeewuunya, ne beebuuzaganya nti, “Kuyigiriza kwa ngeri ki kuno okuggya okujjudde obuyinza? So nʼemyoyo emibi agiragira ne gimugondera.”
28Amangwago amawulire agamukwatako ne gasaasaana wonna mu byalo ebyetoolodde Ggaliraaya.
29Amangwago ne bava mu kkuŋŋaaniro ne bagenda mu nnyumba ya Simooni ne Andereya nga bali ne Yakobo ne Yokaana.
30Ne basanga nga nnyina muka Simooni agalamidde mulwadde omusujja. Amangwago ne bakitegeeza Yesu.
31Bwe yamusemberera, nʼamukwata ku mukono nʼamuyimusa, omusujja ne gumuwonako, nʼabaweereza!
32Awo obudde bwe bwali buwungeera, ngʼenjuba egwa, ne bamuleetera abalwadde bonna, nʼabaaliko dayimooni.
33Ekibuga kyonna ne kikuŋŋaanira ku luggi.
34Era Yesu nʼawonya abalwadde bangi abaalina endwadde ezʼenjawulo era nʼabaaliko baddayimooni bangi nʼababagobako, ne baddayimooni teyabaganya kwogera, kubanga baali bamumanyi.
35Enkeera ngʼobudde tebunnalaba yesu nʼazuukuka nʼagenda yekka mu kifo ekyekusifu, okusaba.
36Awo Simooni ne be yali nabo ne bamunoonya,
37bwe baamulaba ne bamugamba nti, “Buli muntu akunoonya.”
38Naye Yesu nʼabagamba nti,
39Awo nʼabuulira mu makuŋŋaaniro agʼomu kitundu kyonna ekyʼe Ggaliraaya, era nʼagoba ne baddayimooni.
40Awo omugenge
41Yesu nʼamusaasira, nʼagolola omukono gwe, nʼamukwatako, nʼamugamba nti,
42Amangwago ebigenge ne bimuwonako, nʼaba mulongoofu.
43Awo Yesu nʼamukuutira nnyo nʼamusiibula,
44ngʼagamba nti,
45Naye omusajja nʼatandika okwogera ku ebyo ebyamubaako, nʼokubibunyisa. Yesu nʼatasobola kuyingira mu kibuga mu lwatu, naye nʼabeeranga mu bifo ebyekusifu. Abantu ne bajjanga gyʼali okuva mu njuyi zonna.