1Awo nʼagolokoka nʼava eyo nʼalaga mu kitundu kya Buyudaaya ku ludda olulala olwa Yoludaani. Ebibiina ne bimuguberera era naye nʼabayigiriza nga bwe yakolanga bulijjo.
2Abamu ku Bafalisaayo ne bajja ne bamubuuza balyoke bamukwase, nga babuuza nti, “Kituufu omusajja okugoba mukyala we?”
3Yesu nʼaddamu nti, “Musa yagamba atya ku nsonga eyo?”
32Awo bwe baali nga bali mu kkubo, nga bagenda e Yerusaalemi, Yesu ngʼakulembeddemu, abayigirizwa be ne bamuvaako emabega nga bamugoberera naye nga bajjudde okutya nʼokweraliikirira. Yesu nʼabazza wa bbali, nʼabannyonnyola byonna ebyali bijja okumutuukako nga batuuse mu Yerusaalemi.
33Nʼababuulira nti, “Bwe tunaatuuka eyo, Nze, Kristo, Omwana wʼOmuntu nzija kukwatibwa, ntwalibwe mu maaso ga bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka. Bajja kumpaayo mu Baruumi bansalire ekibonerezo ekyʼokufa.
34Bajja kunduulira bampandire nʼamalusu bankube embooko era banzite, naye nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.”
35Awo Yakobo ne Yokaana, batabani ba Zebbedaayo ne bajja eri Yesu ne boogera naye mpola mu kyama nti. “Omuyigiriza, waliwo ekintu kye tukusaba otukolere.”
36Nʼababuuza nti, “Kiki ekyo?”
37Ne bamuddamu nti, “Tusaba mu bwakabaka bwo tutuule ku ntebe eziriraanye eyiyo, omu atuule ku mukono gwo ogwa ddyo nʼomulala ku gwa kkono?”
38Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Kye musaba temukitegeera! Musobola okunywa ku kikompe ekyʼokubonaabona kye ŋŋenda okunywako? Oba okubatizibwa mu kubonaabona nga bwe ŋŋenda okubatizibwa?”
39Ne bamuddamu nti, “Tusobola.” Yesu nʼabagamba nti, “Okunywa ku kikompe kyange mugenda kunywako era mulibatizibwa ne mu kubatizibwa kwange.
45Nange kennyini, Kristo, sajja ku nsi kuweerezebwa, wabula Nze okuyamba abalala, era nʼokuwaayo obulamu bwange ngʼomutango okununula abangi.”
46Awo Yesu nʼabayigirizwa be ne batuuka mu Yeriko. Oluvannyuma bwe baali bava mu kibuga ekibiina kinene ne kibagoberera. Waaliwo omusajja omuzibe wʼamaaso, erinnya lye Battimaayo (mutabani wa Timaayo) eyasabirizanga, eyali atudde ku mabbali gʼoluguudo.
47Awo Battimaayo bwe yategeera nga Yesu Omunnazaaleesi ajja okuyita we yali, nʼatandika okuleekaana nti, “Yesu, Omwana wa Dawudi, onsaasire!”
48Abamu ku bantu abaali mu kibiina ne bamuboggolera nti, “Sirika! Totuleekaanira!” Naye ye ne yeeyongera bweyongezi okukoowoola ngʼaddiŋŋana nti, “Ayi Omwana wa Dawudi, onsaasire!”