Makko 11:1-33 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼabayigirizwa be, bwe baali basemberedde Besufaage ne Besaniya ebiriraanye Yerusaalemi, nga batuuse ku lusozi olwa Zeyituuni, Yesu nʼatuma abayigirizwa be babiri babasooke mu maaso.

2Nʼabalagira nti, “Mugende mu kyalo ekituli mu maaso, bwe munaaba mwakakituukamu mujja kulaba omwana gwʼendogoyi oguteebagalwangako nga gusibiddwa awo. Mugusumulule mugundeetere wano.

3Era omuntu yenna bwʼababuuza gye mugutwala, mumuddamu nti, ‘Mukama waffe yʼagwetaaga, era tujja kugukomyawo mangu.’ ”

4Abaatumibwa ne bagenda, ne balaba omwana gwʼendogoyi nga guyimiridde ku luguudo, naye nga gusibiddwa ku muguwa wabweru wʼennyumba. Bwe baali bagusumulula,

5abamu ku bantu abaali bayimiridde awo ne bababuuza nti, “Abange, omwana gwʼendogoyi, musumulula gwa ki?”

6Abayigirizwa ne baddamu nga Yesu bwe yabagamba, ne balyoka babakkiriza okugutwala.

7Omwana gwʼendogoyi ne baguleetera Yesu. Abayigirizwa be ne baddira ebyambalo byabwe ne babyaliira ku mugongo gwayo, Yesu nʼagwebagala.

8Awo abantu bangi abaali mu kibiina ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo mwe yali agenda okuyita, abalala ne bamenya amatabi gʼemiti mu nnimiro ezaali okumpi, nago ne bagaalira mu luguudo.

9 Abaali mu maaso ge nʼabaali emabega we, bonna ne baleekaanira waggulu nti: “Atenderezebwe oyo ajja mu linnya lya Mukama![7]

9“Ozaana!”

10“Atenderezebwe olwʼokukomyawo obwakabaka bwa jjajjaffe Dawudi nʼokubuwa omukisa!” “Ozaana! Ayi ali waggulu ennyo!”

11Awo Yesu nʼatuuka mu Yerusaalemi, nʼayingira mu Yeekaalu. Nʼatunula, ne yeetoolooza amaaso wonna, naye obudde bwali buyise, nʼafuluma nʼagenda e Besaniya nʼabayigirizwa be ekkumi nʼababiri.

12Enkeera bwe baali bava e Besaniya, Yesu nʼalumwa enjala.

13Nʼalengera omutiini, nga guddugazza bulungi amalagala, nʼagendayo alabe obanga anaasangako ebibala. Yagenda okugutuukako nga kuliko malagala meereere, kubanga si kye kyali ekiseera kyagwo okubaako ebibala.

14Awo Yesu nʼagamba omuti nti, “Omuntu yenna alemenga okuddayo okulya ekibala kyo!” Abayigirizwa be ne bamuwulira ngʼakyogera.

15Bwe baatuuka mu Yerusaalemi nʼayingira mu Yeekaalu, nʼatandika okugobamu abaali batundiramu nʼabaali baguliramu, nʼavuunika emmeeza zʼabaali bawaanyisa ensimbi, nʼavuunika nʼentebe zʼabatunzi bʼamayiba.

16Era nʼataganya muntu kuyisa kintu kyonna.

17 Nʼabayigiriza ngʼagamba nti, Naye mmwe mugifudde mpuku yʼabanyazi.”

17“Tekyawandiikabwa nti, ‘Ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabiramu amawanga?’

18Bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka bwe baakiwulira, ne batandika okusala amagezi balabe bwe bayinza okumuzikiriza. Baali bamutya engeri ekibiina kyonna bwe kyali kyewuunya okuyigiriza kwe.

19Obudde bwe bwawungeera Yesu nʼabayigirizwa be ne bafuluma mu kibuga.[8]

20Awo enkeera mu makya abayigirizwa be ne balaba omuti omutiini Yesu gwe yakolimira nga gukaze okuviira ddala ku kikolo!

21Peetero nʼajjukira nʼagamba Yesu nti, “Omuyigiriza, laba omuti omutiini gwe wakolimira gukaze!”

22Yesu nʼagamba abayigirizwa be nti, “Mukkiririze mu Katonda.

23Ddala ddala mbagamba nti buli aligamba olusozi luno nti, ‘Situka ogwe mu nnyanja,’ nʼatabuusabuusa mu mutima gwe, naye nʼaba nʼokukkiriza, kyʼayogedde kirituukirira.

24Noolwekyo mbagamba nti buli kye munaasabanga, mukkirize nti mukiweereddwa, era kinaabanga bwe kityo gye muli.

25Bwe mubanga mugenda okusaba musonyiwenga omuntu yenna gwe mulinako ensonga, ne Kitammwe ali mu ggulu alyoke abasonyiwe ebyonoono byammwe.

26Naye bwe mutaasonyiwenga, ne Kitammwe ali mu ggulu talibasonyiwa byonoono byammwe.”

27Yesu nʼabayigirizwa be bwe baakomawo mu Yerusaalemi yali atambulatambula mu Yeekaalu, bakabona abakulu nʼabannyonnyozi bʼamateeka nʼabakulembeze bʼAbayudaaya ne bajja gyʼali

28ne bamubuuza nti, “Buyinza ki obukukoza bino? Era ani yakuwa obuyinza okukola bino?”

29Naye Yesu nʼabaddamu nti, “Bwe munaamala okunziramu ekibuuzo kyange kimu, nange nʼababuulira eyampa obuyinza obwo!

30Okubatiza kwa Yokaana kwava mu ggulu oba kwava eri bantu? Munziremu!”

31Ne bakubaganya ebirowoozo bokka na bokka nti, “Bwe tuddamu nti, ‘Kwava mu ggulu,’ ajja kutubuuza nti, ‘Kale, lwaki temwamukkiriza?’

32Naye, ate bwe tuddamu nti, ‘Kwava eri bantu.’ ” Baali batya ekibiina kyʼabantu. Kubanga buli muntu yalowooza Yokaana okuba nnabbi.

33Ne baddamu Yesu nti, “Tetumanyi.” Awo Yesu nʼabaddamu nti, “Nange sijja kubabuulira obuyinza obunkoza ebintu ebyo gye mbuggya.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.