Makko 12:1-44 LGCB2014 - Bible AI

1Awo Yesu nʼatandika okwogera nabo mu ngero, ngʼagamba nti, “Waaliwo omusajja eyalima ennimiro yʼemizabbibu, nʼateeka olukomera okugyetooloola, nʼateekamu essogolero, nʼazimbamu nʼomunaala, nʼagifuniramu abalimi abaagipangisa, nʼagenda olugendo.

2Ekiseera kyʼamakungula bwe kyatuuka, nʼabatumira omuddu okufuna ebibala okuva mu nnimiro eyʼemizabbibu.

3Naye bwe yatuuka ku nnimiro abalimi ne bamukuba ne bamusindika nʼaddayo ngalo nsa.

4Nannyini nnimiro nʼatuma omuddu we omulala, oyo ne bamukuba olubale, ne bamuswaza.

5Omubaka omulala gwe yatuma baamutta bussi, ate abalala be yazzaako okutuma, abamu baabakuba nʼabalala ne babatta.

6“Yali asigazzaawo omu yekka owʼokutuma, ye mutabani we omwagalwa. Bwʼatyo nʼamutuma gye bali ngʼagamba nti, ‘Bajja kussaamu mutabani wange ekitiibwa.’

7“Naye abalimi abo ne bateesa bokka na bokka nti, Ono ye musika, mujje tumutte ennimiro tuligyesigaliza!

8Awo ne bamukwata ne bamutta omulambo gwe ne bagusuula ebweru wʼennimiro yʼemizabbibu.

9“Mulowooza nannyini nnimiro alikola atya? Agenda kujja, abalimi abo bonna abazikirize, ennimiro ye agipangiseemu abalimi abalala.

10Temusomangako byawandiikibwa nti,

10‘Ejjinja abazimbi lye baagaana, lye lyafuuka ekkulu eryʼoku nsonda.

11 Ekyo Mukama ye yakikola era kitwewuunyisa nnyo okukiraba.’ ”

12Abakulembeze bʼAbayudaaya ne bamanya nga bo bʼalugereddeko, olwo ne banoonya engeri gye bayinza okumukwata, naye ne batya ekibiina. Ne bamuviira ne bagenda.

13Ne bamuweereza abamu ku Bafalisaayo nʼAbakerodiyaani boogere, bagezeeko okumutega mu bigambo.

14Awo ne bajja gyʼali ne bamugamba nti, “Omuyigiriza, tumanyi ngʼoyogera mazima era tolina gwʼotya. Toffaayo ku nfaanana yʼabantu, wabula amazima ameereere, era oyigiriza ekkubo lya Katonda. Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tetugumuwa?”[9]

15Naye Yesu nʼategeera obunnanfuusi bwabwe nʼabagamba nti, “Lwaki munkema. Mundeetere ensimbi ngirabe.”

16Ne bagimuleetera, nʼababuuza nti, “Ekifaananyi kino nʼebiwandiiko ebiri ku nsimbi kuno byʼani?” Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.”

17Nʼabagamba nti “Kale ebintu bya Kayisaali mubiwenga Kayisaali nʼebya Katonda, mubiwenga Katonda!” Ne bamwewuunya nnyo.

18Awo Abasaddukaayo abagamba nti Tewali kuzuukira, ne bamubuuza nti,

19“Omuyigiriza, Musa yatuwa etteeka erigamba nti Omusajja omufumbo bwʼafanga nga tazadde baana, muganda wʼomufu awasenga nnamwandu wa muganda we oyo alyoke amuzaalire abaana.

20Waaliwo abooluganda musanvu, mukulu waabwe nʼawasa, Oluvannyuma nʼafa nga tazadde baana.

21Muto wʼomufu kwe kuwasa nnamwandu wa mukulu we, waayitawo akabanga katono naye nʼafa, nga naye tazadde mwana. Muganda wʼomufu amuddako nʼawasa nnamwandu oyo, naye nʼatazaala.

22Bonna omusanvu ne bafa ne baggwaawo. Oluvannyuma nʼomukazi naye nʼafa.

23Kale, mu kuzuukira kwʼabafu omukazi oyo aliba muka ani, kubanga bonna yabafumbirwako?”

24Yesu nʼabaddamu nti, “Ekibaleetedde omutawaana bwe butamanya byawandiikibwa, ate nga nʼobuyinza bwa Katonda nabwo temubutegeera.

25Kubanga bwe balizuukira mu bafu tebagenda kufumbiriganwa, kubanga bonna baliba nga bamalayika bwe bali mu ggulu.

26 Ate ebifa ku kuzuukira kwʼabafu, temusomanga mu kitabo Musa bwe yali ku kisaka Katonda nʼamugamba nti, ‘Nze Katonda wa Ibulayimu era Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo?’

27Katonda si Katonda wʼabafu, wabula owʼabalamu. Mukyamye nnyo.”

28Awo omu ku bannyonnyozi bʼamateeka eyali ayimiridde awo ngʼawuliriza bye baali beebuuza, nʼategeera nga Yesu azzeemu bulungi. Naye nʼamubuuzaayo nti, “Mu mateeka gonna, erisingamu obukulu lye liruwa?”

29Yesu nʼamuddamu nti, “Eryʼolubereberye lye lino nti ‘Wulira, Isirayiri! Mukama Katonda waffe, Mukama ali omu yekka.

30 Era yagala Katonda wo nʼomutima gwo gwonna nʼomwoyo gwo gwonna, nʼamagezi go gonna, nʼamaanyi go gonna.’

31 Nʼeryokubiri lye lino nti, ‘Oyagalanga muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka.’ Tewaliiwo mateeka malala gasinga ago bukulu.”

32Omunnyonnyozi wʼamateeka nʼagamba nti, “Omuyigiriza ekigambo kyʼoyogedde kya mazima bwʼogambye nti Waliwo Katonda omu yekka era teriiyo mulala.

33Era mmanyi nga kikulu nnyo okumwagala nʼomutima gwaffe gwonna, nʼokutegeera kwaffe nʼamaanyi gaffe, nʼokwagala muliraanwa wo nga bwe weeyagala wekka, era ngʼekyo kikulu okusinga ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka.”

34Yesu bwe yalaba ngʼomusajja azzeemu nʼamagezi nʼamugamba nti, “Toli wala nʼobwakabaka bwa Katonda.” Okuva ku ekyo ne watabaawo muntu nʼomu eyayaŋŋanga okwongera okumubuuza ebibuuzo ebirala.

35Bwe waayitawo akabanga, Yesu yali ayigiriza mu Yeekaalu, nʼababuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi bʼamateeka bagamba nti Kristo Mwana wa Dawudi?

36 Kubanga Mwoyo Mutukuvu bwe yali ali ku Dawudi, Dawudi yennyini yagamba ku bwa Mwoyo Mutukuvu nti,

36‘Mukama yagamba Mukama wange nti, “Tuulira wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi wʼebigere byo.” ’

37Dawudi yennyini amuyita Mukama we, ayinza atya ate okuba Omwana we?” Ekibiina kyalimu abantu bangi, ne bamuwuliriza nʼessanyu.

38Awo Yesu nʼayigiriza ngʼagamba nti, “Mwekuume abannyonnyozi bʼamateeka, kubanga baagala nnyo okwambala ne batambulatambula mu butale ngʼabantu babalamusa.

39Baagala nnyo okutuula mu bifo ebisinga obulungi mu makuŋŋaaniro, nʼokutuula mu bifo ebyʼekitiibwa ku mbaga.

40Kyokka, banyagako bannamwandu amaka gaabwe, ne beeraga nga basaba esaala empanvu ennyo. Ekibonerezo kyabwe kyekiriva kibeera ekinene ddala.”

41Awo Yesu bwe yatuula okwolekera eggwanika lyʼensimbi, nʼalaba engeri ekibiina kyʼabantu gye bateekamu ensimbi mu ggwanika. Abagagga bangi baali bateekamu ensimbi nnyingi.[10]

42Awo nnamwandu eyali omwavu nʼajja nʼateekamu ebitundu bibiri, ye kodulante.[11]

43Yesu nʼayita abayigirizwa be, nʼabagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu awaddeyo nnyo okusinga bonna bali abatadde mu ggwanika.

44Kubanga bonna bataddemu ku bibafikkiridde, naye ate nnamwandu ono mu kwetaaga kwe ataddemu kyonna kyʼabadde nakyo, ekibadde kijja okumuyamba obulamu bwe bwonna.”

© 2014 by Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.