1Awo Yesu bwe yali ngʼava mu Yeekaalu omu ku bayigirizwa be nʼamugamba nti, “Omuyigiriza, laba, amayinja ago, nʼebizimbe ebyo.”
2Yesu nʼamuddamu nti, “Ebizembe ebyo ebyʼekitalo obiraba? Ne bwe kiriba ki tewaliba jjinja na limu wano eririsigala ku linnaalyo.”
3Awo Yesu bwe yali ngʼatudde awo ku lusozi olwa Zeyituuni, okwolekera yeekaalu, Peetero ne Yakobo ne Yokaana ne Andereya ne bamubuuza mu kyama, ne bamubuuza nti,
4“Tutegeeze, ebintu byonna we birituukirira, era nʼakabonero akalibaawo ngʼebyo byonna bigenda okutuukirira.”
8Kubanga amawanga galirwanagana, nʼobwakabaka bulirwana nʼobwakabaka, era musisi aliyita mu bifo bingi, nʼenjala nnyingi erigwa. Okulumwa ngʼokwʼokuzaala kuliba kutandika butandisi.”
9“Mwekuume mmwe. Balibaawo mu mbuga zʼamateeka ne mu makuŋŋaaniro, mulikubibwa, muliyimirira mu maaso ga bakabaka ne bagavana. Muliyimirira ku lwange, okubeera abajulirwa gye bali.
14ⓢ“Bwe mulabanga ekintu ekyʼomuzizo ekizikiriza, nga kiyimiridde mu kifo we kitasaanira (asoma bino, weetegereze) abali mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi.
15Nʼoyo alibeera waggulu ku nnyumba takkanga wadde okuyingira okubaako kyʼatwala okuva mu nnyumba ye.
16Nʼoyo alibeera mu nnimiro, taddanga kutwala bintu bye, wadde okukima yo olugoye lwe.
17Naye ziribasanga abaliba embuto nʼabaliba bayonsa mu nnaku ezo.
18Naye musabe ekiseera ekyo kireme kuba kya butiti.